OMUYIMBI Bebe Cool, biigi sayizi, bba wa Zuena n’amalala mangi (ng’amba amannya) ekivvulu kya ‘Minzaani’ akitandise na busiki mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Ku wiikendi, yabadde Mubende gye yakubidde emiziki egyasitudde bannakawere gattako n’abaana abanuuna engalo abazze n’obulimiro ne basula nga babinuka.
“Twagala tukakase oba nga ddala Bebe Cool yassuuka... twawulira nti baamukuba amasasi mu magulu...” Abamu ku bazze mu kivvulu kye bwe baategeezezza.
Abamu bwe baatuuseeyo ng’obutebe buweddewo, ne badda eka ne beetikka busituulu.
Bebe afuukudde ab’e Mubende