
Akakiiko akaddukanya SACCO omwegattira abaserikale ku mitendera egy’enjawulo eya Wazalendo kaatuuse kunzikiriziganya ne Joseph Magandaazi Yiga owa kkampuni ya JOMAYI Property Consultants mu nteekateeka y’okusobozesa abajaasi okwegulira ettaka ku ssente ensaamusaamu.
Endagaano baagikoledde ku kitebe ky’amaggye e Mbuya.
Mu nkola eno, akakiiko ka SACCO ke k’okusembanga omujaasi anaasasulanga ettaka ku kibanjampola. Omwogezi wa UPDF, Col. Felix Kulayigye yakakasizza endagaano eno.
Abajaasi banaagula ettaka ku kibanjampola