Poliisi y’e Nansana ekutte abasajja bana abagambibwa okwekobaana ne banyaga pikipiki ey’ekika kya Bajaj Boxer, nnamba UDM 444G okuva mu paakingi y’ebidduka ku Janina.
Abaakwate kuliko, Edward Ssempala, Lubega Kiwewesi, Amos Mwebaze ne Franco Luswaabu. Ssempala yaluumirizibwa okukulemberamu olukwe luno mwe bawudiisiriza omukuumi ne baginyaga.
Baakwatiddwa banoonya muguzi abaweemu 1,500,000/-. Bagguddwaako omusango ku fayiro nnamba CRB/1195/11.
Pikipiki ebakwasizza