
OMUSAJJA addukidde ku poliisi n’aloopa munne ng’amulumiriza okumusigulako omukazi n’okumukuba n’amubbako ssente.
Bino byabaddewo ku Lwokusatu ku Katuba siteegi ku lw’e Salaama, Mustapha Kasango ow’e Salaama bwe yaddukidde ku poliisi e Katwe n’awaabira Ronald Kiguli ng’amulumiriza okumusigulako Resty Nambi gw’alinamu omwana, okumukuba n’okumubbako ssente emitwalo 21.
Kiguli yeegaanyi okuyingirira amaka ga Kasango n’ategeeza nti okukwana Nnambi yamusanga abeera wa maama we gye yamuggya ne batandika okubeera bombi.
Nambi yayatulidde Kasango nga bw’atakyasobola kumuddira kuba abadde asussizza okumukuba nga kati ayagala kubeera ne Kiguli kuba amuwa emirembe.
Wabula Poliisi y’e Katwe yaggalidde Kiguli ku gw’okukuba Kasango.
Asigudde mukazi wange’