TOP

Omusawo w'ekinnansi amukase omukwano

Added 1st November 2011

POLIISI ekutte omusawo w’ekinnansi agambibwa okukaka omukazi akaboozi bwe yabadde agenze mu ssabo okufuuwa emmindi afune omusajja ow’okumuwasa.

POLIISI ekutte omusawo w’ekinnansi agambibwa okukaka omukazi akaboozi bwe yabadde agenze mu ssabo okufuuwa emmindi afune omusajja ow’okumuwasa.    

Muhammed Ssaalongo Ssentongo Yiga ow’e Masajja Kibira yakwatiddwa poliisi ye Salaama nga kigambibwa nti yakutte Sharon (amalala gasirikiddwa) n’amukaka akaboozi n’oluvannyuma n’amubbako ne ssente ze 20,000/-.

Sharon annyonnyola nti yagenze n’ategeeza omusamize ono eyeeyita Namuzinda nti akooye okubeera obwomu era ayagala afune omusajja amuwase. 

Baatandise okufuuwa emmindi kyokka obudde bwe bwawungedde n’amutegeeza nti agenda kumufunira omusajja. Wabula yamussizza ku bodaboda n’amutwala mu bbaala n’atandika okumugulira walagi w’omu buveera.

Annyonnyodde nti yamusabye okumutwala ku kkubo afune takisi ezidda ewaka kyokka bwe baatuuse mu kkubo n’amukwata n’amuyuliza empale n’amukaka akaboozi.

Akulira poliisi y’e Salaama, IP John Kibaro yategeezezza nti Sharon yabatuuseeko ku ssaawa 4:30 ez’ekiro n’aggulawo omusango ku SD:19/29/10/2011.
 

Omusawo w’ekinnansi amukase omukwano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi  Bukomeko (ku ddyo), omulabirizi Wilson Mutebi, Minisita Nabakooba neKatuukiro wa Busoga, Joseph Muvawala.

Dr. Bukomeko ajaguzza omwak...

Omulabirizi wa Mityana, Dr. James Bukomeko alangiridde enkola, ey'okutandikawo ebintu ebivaamu ensimbi n'agamba...

Abakulembeze ba Rwampara ku mukolo.

Balaze ebiyinza okuvaako ab...

AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Rwampara, Muky. Kelen Tukamuhirwe ategeezezza nti ng'abayizi beetegeka...

Kkwiini ow'emyaka 94  ne bba Philip 99.

Ebintu 8 Kkwiini wa Bungere...

KKWIINI Elizabeth yagattibwa n'Omulangira Philip (mu kiseera kino ali ku ndiri mu ddwaaliro) nga November 20, 1947...

Fr. Anthony Kakumba Mwanje mu Mmisa eggulo.

'Mweyambise ekisiibo mudde ...

BWANNAMUKULU w'ekigo ky'e Kitovu  Fr. Anthony Kakumba Mwanje awabudde Abakristu ababadde beesambye Omukama olw'okwetaba...

Omulabirizi Kityo Luwalira ng'asaba eggulo mu Kkanisa ya St. Apollo Kivebulaaya  e Bukondo.

Mudde eri Katonda kubanga l...

OMULABIRIZI w'e Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira  akuutidde Abakulisitaayo okudda eri Katonda kubanga ly'ekkubo...