
YUNIVASITE y’e Makerere efunye ekyuma eky’omulembe okukuba bbaluwa z’abayizi abamaze emisomo bakendeeze ku butitimbe bwa ssente obubadde busasulibwa mu Amerika gye babadde bazikubira.
Akola ng’omumyuka w’akulira yunivasite eno, Ikoja Odong ku Lwokutaano ng’atongoza ekyuma kya Xerox X700, yagambye nti kyawemmense obukadde 500.
Yagasseeko nti ng’oggyeeko okukola ebbaluwa z’abayizi, kisobola okukola ebyapa by’ettaka, tikiti z’omupiira n’ebirala kubanga kiteekamu obubonero obw’enjawulo obutangira okukolamu ebicupuli.
Joseph Kirabo akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuba ebiwandiiko mu byapa e Makerere yasiimye aba kkampuni ya Xerox Internationa abatuusizza ekyuma
Makerere efunye ekyuma ekikuba ebbaluwa z’abayizi