Nabakooba (owookusatu ku kkono) ng’asala keeki n’abayizi ba Emma High e Kikaaya.
Omumyuka w’omwogezi wa poliisi, Judith Nabakooba akubirizza abawala b’amasomero okuwa emibiri gyabwe ekitiibwa beewale okugijaajaamya okuziyiza okufuna embuto ze bateeyagalidde n’obulwadde bwa siriimu.
Nabakooba bino yabyodde ayogera eri abayizi b’essomero lya Emma High e Kikaaya mu Munisipaali y’e Kawempe ku Ssande.
Yajjukizizza abayizi abali mu S4 ne S6, nti ensi erimu okusomoozebwa okw’amaanyi ekibeetaagisa okwekuuma kubanga ebirungi biri mu maaso.
Nabakooba yakyukidde abayizi abalenzi n’abakubiriza okwewala ebiduula ebiyinza okubaviirako okukemebwa ne beenyigira mu kukozesa ebiragala ebikyusa obwongo n’obumenyi bw’amateeka.
Abawala mwewale okujaajaamya emibiri gyammwe - Nabakooba