TOP

Batabukidde Meeya Clarke ku nguudo embi

Added 7th August 2012

BAKANSALA b’e Makindye nga bakulembeddwaamu omubaka wa Makindye Gast John Ssimbwa n’abatuuze batabukidde meeya waabwe Ian Clarke olw’enguudo embi.

BAKANSALA b’e Makindye nga bakulembeddwaamu omubaka wa Makindye Gast John Ssimbwa n’abatuuze batabukidde meeya waabwe Ian Clarke olw’enguudo embi.  Nga bali mu lukiiko olwatudde ku ssomero lya St. Johns Primary School e Kabalagala bakansala abaabadde basisinkanye meeya okwogera ku nguudo embi n’ebyokwerinda by’ekitundu kya Makindye baatabuse okukkakkana ng’olukiiko luwedde tebatuuse ku nteeseganya.
Meeya yasomye olukalala lw’enguudo ezigenda okukolebwa era ekyanyiizizza bakansala bwe butawulira luguudo lw’e Kabalagala lwe bagamba nti baludde nga balwemulugunyako olw’embera gye lulimu embi. Baamusabye bamulambuze enguudo ezaalekeddwa okuli olw’e Kabalagala oluyita mu Kataba ne Kibuli kyokka baabadde baakatambulako ne basanga abatuuze abeekalakaasa nga basibye ebitooke mu kkubo naye ne yeekandagga n’agenda.

Batabukidde Meeya Clarke ku nguudo embi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...