
BYA EVA NALUWAGGA
OMUVUBUKA eyeefuula omukazi bamukwatidde mu kisulo ky’abayizi ng’anyaga. Abel Atuhairwe 22 eyeeyita Patience, yakwatiddwa poliisi ye Wandegeya oluvannyuma lw’okuloopebwa abayizi abasula mu kisulo kya Akamwesi nga bwe yanyaze kompyuta bbiri.
Kigambibwa nti Atuhairwe amaze wiiki bbiri ng’asula mu kasenge omusula abawala kyokka nga tebamanyi nti musajja.Poliisi bwe yamukutte n’ekizuula nti ye muvubuka azze akwatibwa nga yefuula malaaya n’anyaga
abasajja.
Okusooka okuzulula nti mukazi yakwatibwa n’assibwa mu kadukulu k’abakazi kyokka ekiro abasibe ne balaba ng’afuuyisa, era obudde olwakya ne bamuloopera poliisi. Wano ne poliisi we yategeerera nti musajja n’emussa mu kaduukulu k’abasajja.
Omuduumizi ku poliisi y’e Wandegeya Ceaser Tusingwire yagambye nti yaguddwaako omusango ku fayiro nnamba
SD:79/25/10/2012.
Wano ng’asiize enjala.
Eyeefudde omukazi bamukutte asula n’abayizi abawala