TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazigu basse omukuumi ku Sunset Arcade mu Kampala

Abazigu basse omukuumi ku Sunset Arcade mu Kampala

Added 30th November 2012

ABAZIGU abatanategerekeka batuze omukuumi abadde akuuma ku kizimbe kya Ivory Plaza eky'omugagga Mansoor Matovu amanyiddwa nga Yanga ekisangibwa ku Wilson Road omulambo gwe n'ebagusuula mu lukuubo.

Bya Eria Luyimbazi


ABAZIGU abatanategerekeka batuze omukuumi abadde akuuma ku kizimbe kya Ivory Plaza eky'omugagga Mansoor Matovu amanyiddwa nga Yanga ekisangibwa ku Wilson Road omulambo gwe n'ebagusuula mu lukuubo.


Bino byabaddewo mu kiro ekyakesezza ku Lwokutaano abazigu bwe basse Jamil Twesimire abadde akolera kkampuni ya Security 2000 Ltd ng'akuuma ekizimbe kya Ivory Plaza omulambo ne bagutwala n'ebagusuula mu lukuubo olwawula ekizimbe kya Sun set Arcade ne Pioneer Mall.


Omuduumizi wa poliisi ya CPS James Ruhweza yagambye nti abazigu nga tebanatta Twesimire basoose ku musiba miguwa ku mikono n'amagulu n'okumusiba akatambala ku mumwa oluvanyuma nebamukuba ku mutwe nafiirawo.


Yagambye nti abazigu bano emmundu Twesimire gyeyabadde akoseza okukuuma tebaagitutte nga kati Poliisi eri mu kunoonyereza okuzuula ekigendererwa ky'abatemu bano.


Omulambo gwa Twesimire Poliisi yagututte mu ddwaliro e Mulago okwongera okugwekebejja.

Abazigu basse omukuumi ku Sunset Arcade mu Kampala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...