TOP

Ab'e Kibuye beekalakaasiza lwa KCCA

Added 28th June 2013

Abasubuuzi abakolera mu Katale ka Kabaka e Kibuye bavudde mu mbeera n’ebeekalakaasa nga bawakanya ab'ekitongole kya Rexba okuteeka amagye mu Katale n'okugoba abasubuuzi abakolera wabweru.

 

 

 

 

 

 

Bya Ronald Mubiru ne Fahami Wasswa

Abasubuuzi abakolera mu Katale ka Kabaka e Kibuye bavudde mu mbeera n’ebeekalakaasa nga bawakanya ab'ekitongole kya Rexba okuteeka amagye mu Katale n'okugoba abasubuuzi abakolera wabweru.

Kino kidiridde abaserikale ba KCCA okujja mu katale kano ku saawa 10 nebabowa ebyamaguzi by’abasuubuzi abatundira wabweru nebabitwala ate nebadda nga bukedde okukwata abalala.

Wano abasubuuzi webaviiridde mu mbeera ne bakwata emiggo ne balumba w'offiisi za Rexba ekibiina ekibasoloozaamu ensimbi nga bawakanya eky'okubagoba ku nguudo ate nga basasula ssente ze zimu n'abakolera munda.

Mu kanyoolagano akatutte essaawa kumpi bbiri Poliisi nga eddumirwa DPC Patrick Issamatti ne Oc Ezra Tugume batuuse nebakuba tiya gaasi n'amasasi mu basuubuzi bano okubagumbulula.

Abasuubuzi era basabye n’amagye agaaletebwa okukuuma akatale okugibwawo kubanga ate gatulugunya nnyo abasuubuzi.

Ab''e Kibuye beekalakaasiza lwa KCCA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...