TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amasasi ganyoose nga bakwata ababbira mu takisi: kuliko n''abakazi

Amasasi ganyoose nga bakwata ababbira mu takisi: kuliko n''abakazi

Added 11th July 2013

AMASASI ganyoose nga poliisi ya Makerere Kikoni yeezooba n’ababbi ababbira mu takisi mwe bakwatidde abakazi basatu n’omuvubuka omu ne takisi bbiri.

 

 

 

 

Bya GODFREY LUKANGA

AMASASI ganyoose nga poliisi ya Makerere Kikoni yeezooba n’ababbi ababbira mu takisi mwe bakwatidde abakazi basatu n’omuvubuka omu ne takisi bbiri.

Ekikwekweto ekyakulembeddwa akulira poliisi ya Makerere Kikoni B, Sam Lubega, kyawondedde takisi nnamba UAK 303 V ne UAH 842Y ku luguudo lwa Sir Apollo Kaggwa oluvannyuma lw’abantu okwemulugunya nga bwe babbiddwa mu takisi zino.

Takisi nnamba UAK 303V baagiyimirizza n’egaana okuyimirira, ddereeva waayo n’agiwesa
ku luguudo lwa Nanfumbambi ekyawalirizza abaserikale okugiwereekereza amasasi.

Ddereeva n’abavubuka abamu baagifubutuseemu ne badduka Poliisi n’enywezaako omusajja omu, Pius Kato n’abakazi okuli: Juliana Nalwenyi, Satu Kyomuhendo ne Faridah Namakula abaagambye nti bonna batuuze b’e Nansana ku Kibulooka awali mukama waabwe eyeeyita ‘Meeja’.

Kyomuhendo, Namakula ne Nalwenyi abaakwatiddwa mu bubbi bwa takisi.

Lubega yagambye nti okusinziira ku bantu abaakaloopa, ekibinja ky’ababbi kino ky’ettanira nnyo kompyuta za laptop, ssente enkalu n’okusiba abantu ssente ez’ebicupuli ze kitambula nazo.

“Bassebo mutusonyiwe batusasula emitwalo ebiri ne tutuula mutakisi nga twefudde abasaabaze okusikiriza abantu abalala okulinnya takisi bwe balinnya ne bababba. Tunoonyeza baana kyakulya,” abakazi abaakwatiddwa bwe baawanjaze.

Omu yategeezezza nga bw’alina ebbujje ery’emyezi omusanvu gyokka. Lubega yagambye nti takisi nnamba UAH 842Y baagikwatidde ku luguudo lwa Makerere Hill Road okumpi n’ekifo kya Pork talk nga baabasanze bali mu kunyaga bantu bwe baalabye poliisi ne baduma takisi ne bagirekawo.

Takisi zombi zaatwaliddwa ku poliisi y’e Kikoni. Bagguddwaako omusango gw’obubbi ku SD:20/19/07/2013.

Lubega yagambye nti batandise okunoonyereza ku kibinja ky’ababbi bano mu Kibulooka e Nansana bakwatibwe bavunaanibwe.

Amasasi ganyoose nga bakwata ababbira mu takisi:kuliko n''abakazi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutuulakungo alaze bwe yate...

OMUSAMIZE Mutuulakungo eyatendeka Augustine Yiga Abizzaayo okutetenkanya ekibuga alaze engeri gye yamubangulamu...

Balumbye Mayinja okuyingiza...

Abantu abenjawulo balumbye Ronald Mayinja okuyimba ng’awaana Museveni kyokka n’ayingizaamu Bobi Wine mu ngeri gye...

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...