TOP

Omugagga Meddie asabye bakkaanye n'Omuzungu

Added 5th September 2013

OMUGAGGA Meddie Ssentongo apondoose n’asaba omuzungu David Greenhalg bateeseganye ku nsonga y’okumuddiza ssente ze obuwumbi 10 bwe baamufera ne munne Shanita Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad black kati aliira ku nsiko.



Bya ALICE NAMUTEBI

OMUGAGGA Meddie Ssentongo apondoose n’asaba omuzungu David Greenhalg bateeseganye ku nsonga y’okumuddiza ssente ze obuwumbi 10 bwe baamufera ne munne Shanita Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad black kati aliira ku nsiko.

Meddie ng’ayita mu munnamateeka we, James Muhumuza yategeezezza omulamuzi Henry Adonyo ku kkooti y’obyobusuubuzi eggulo nti beetegefu okuteesa ne Greenhalg (ataabadde mu kkooti) wabweru wa kkooti basobole
okutuuka ku nzikiriziganya. “Ssebo owekitiibwa omulamuzi, mbadde nsaba okutukkiriza tuteeseganye n’omuzungu ensonga tuzimale,” bwatyo Munnamateeka wa Meddie bye yasabye omulamuzi Adonyo.

Ye munamateeka w’omuzungu, Patrick Fura yategeezezza kkooti nti mwetegefu okuteeseganya ne Meddie.

Omulamuzi Adonyo yakkiriza okusaba kwe era n’abalagira okukomawo mu kkooti nga October 4, okumwanjulira kye banaaba batuuseeko nga wabula bwe balemwa okutuuka ku nzikiriziganya, waakugenda mu maaso n’okuwulira omusango okuzuula ekituufu era kkooti n’eyaba.


Bino byonna okubaawo nga Meddie Ssentongo ali mu kkooti era kkooti olwayabye n’afuluma wabweru n’agenda ne bakanyama be abaabadde bamulindiridde.

Oluvannyuma lw’omulamuzi Catherine Bamugemeire owa kkooti y’abakenuzi okusindika Meddie mu kkomera e Luzira akulunguleyo emyezi 18 bwe yamusingisa omusango gw’okwekobaana ne munne Bad Black (eyasibwa emyaka 4) ne babba omuzungu obuwumbi obusoba mu 20 nga July 12, 2012, teyalagira ssente zino baziddize Omuzungu.

Wano Omuzungu we yaddukira mu kkooti y’ebyobusuubuzi n’aggulawo omusango ku babiri bano ng’ayagala kkooti ebalagire okumuliyirira ssente ze zonna ze babba.

Omulamuzi Musalu Musene yakiriziganya n’omuzungu era nalagira eby’obugagga byabwe biboyebwe era okutuusa kati biri mu mikono gya kkooti okutuusa ng’omusango guwedde.

Omugagga Meddie asabye bakkaanye n’Omuzungu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...