TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eraze abemmundu abatigomya Kampala:Bali 25

Poliisi eraze abemmundu abatigomya Kampala:Bali 25

Added 3rd December 2013

ABAZZI b’emisango abagambibwa nti bafuuse ba lulango nga tebava mu buduukulu olw’emisango gye badding’ana, Poliisi ewaliriziddwa okufulumya amannya gaabwe mu lujjudde.



Bya MUSASI WAFFE
ABAZZI b’emisango abagambibwa nti bafuuse ba lulango nga tebava mu buduukulu olw’emisango gye badding’ana, Poliisi ewaliriziddwa okufulumya amannya gaabwe mu lujjudde.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Ibin Ssenkumbi yagambye nti poliisi ekizudde nti abantu abamu b’ezze ekwata be bamu era ku misango gye gimu ekivuddeko okuleetawo omujjuzo mu buduukulu bwayo.

“Tukizudde nti abazzi b’emisango abazze bakwatibwa ne baggalirwa be bamu nga n’emisango egibakwasa tegikyuka nga ne bwe batwalibwa mu kkooti ne basalirwa ebibonerezo, bwe bakomawo emisango gye gimu egiddamu okubakwasa,” Ssenkumbi bwe yagambye.

Yagambye nti abatava mu budukulu bwa poliisi kuliko abasala ensawo, ababbira ku ATM ne mu bbanka, abakommonta enjaga, abateega abantu mu makubo ne babanyaga, abeenyigira mu bwa kkondo n’okubbisa emmundu ssaako abafere.

Yategeezezza nti abantu bano bwe batwalibwa mu kkooti baweebwa ebibonerezo bitono okuva ku myezi ebiri nga bwe babimaliriza mu makomera gye baabasindika, nga bakomawo nga batandikira we baakoma mu kuzza emisango.

Abamu ku bakwate

OLUKALALA LW’ABATAVA MU BUDUUKULU N’EBIBAKWASA
ABAMU ku batava mu buduukulu bwa poliisi kuliko: Nyaru, Ben Kiwanuka eyakazibwako erya Kamenke, Kudra Wasswa, Emmanuel Kityo amanyiddwa nga Selector, Ali Galiwango, Godfrey Bisaso, Moses Mawejje eyakazibwako erya Kawolo Lugazi, Faisal Bisolo, Alex Musoga, Mando, Moses Munnakenya ne Kireego nga bano beenyigira mu kusala nsawo n’okuteega abantu ku nguudo ne babanyaga. Bano nti tebava mu kaduukulu ka CPS .

Abalala kuliko; Brown Katushabe, Henry Ssegirinya eyakazibwako erya Sakaaza, Michael Kizza ne Songe Musoke nga bano bakwatiddwa enfunda eziwera ku by’okuteega abantu ku luguudo lwa Queen’s Way. Mu bwa kkondo kuliko Fred Ssenyonga, Ronald Mbaziira, Ronald Kimera, Sam Kabuga ne Roger Gidudu ng’ono abba nnyo ne ku mizikiti.

Mu bafere kuliko: Shafik Mulabula ng’ono akolagana ne Tony Muyingo, Martin Ssekajja Katula ne James Mwanje nga bano bakwatibwa ku nsonga z’okubbira ku ATM ne ssente ku bantu abagenze mu bbanka.

 

Poliisi eraze abemmundu abatigomya Kampala:Bali 25

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...