
BYA SAMUEL KANYIKE
ABALIMI, abalunzi n’abasuubuzi nga beetegekera ennaku enkuluzino okulaba nga bayoola omudidi mu kugula n’okutunda abantu bye bettanira okuyita mu nnaku za Ssekukkulu ne bakyala kimpadde nabo balindiridde okubba bye batatuuyanidde.
Mu Luweero, Nakaseke ne Nakasongola, abalunzi n’abalimi emitima gibeewanise olw’ababbi abayigganya ente, embuzi n’enkoko zaabwe ssaako amatooke abantu ge baasiba mu nsuku gabayambe mu nnaku enkulu.
Abalunzi b’ente mu ggombolola omuli Ngoma, Kinnyogoga, Kito ne Wakyato mu disitulikiti ya Nakaseke,
ssaako Kamira, Kikyusa, Butuntumula ne Makulubita ssaako Nakitoma, Nabiswera, Kalungi, Kalongo
n’e Lwampanga mu Nakasongola beeraliikirivu olw’ababbi okutandika okubba ente zaabwe.
Ente bazibba mu biraalo ne bazibaagira ku nsiko ne batwalira ennyama e Kampala sso ng’abalala beekobaana n’abakinjaagi ne babaguza ente n’embuzi enzibe.
Ab’e Luweero beeraliikiridde ababbi