TOP

Eyeeyise Afande Omara gamumyuse

Added 26th December 2013

POLIISI mu Kampala ekutte omusajja abadde yeeyita omusirikale akulira ebikwekweto mu kitundu kya Kampala North ng’akwata abantu ssaako n’okubatiisatiisa.



Bya Eria Luyimbazi

POLIISI mu Kampala ekutte omusajja abadde yeeyita omusirikale akulira ebikwekweto mu kitundu kya Kampala North ng’akwata abantu ssaako n’okubatiisatiisa.

Isaac Byamukama omutuuze we Maganjo zooni B nga muvuzi wa bodaboda e Kawempe yeyakwatiddwa abasirikale ba poliisi ye bidduka ku CPS oluvannyuma lw’okumukwata ne kaadi enjingirire eraga nti yaakulira ebikwekweto mu kitundu kya Kampala East ekifo ekirimu Sam Omara.

Sam Omara nga yaakulira ebikwekweto mu kitundu kya Kampala North yagambye nti Byamukama yafuna kaadi ye okuli endagiriroye nagitwala nateekako amannyage ssaako ne lanka kwali eya Senior Superintendent of police(SSP) ng’eno gyabadde alaga mu bantu nga abatisatiisa.

Kaadi eyasangiddwa ne Byamukama

“Tukutte omusajja abadde agenda nga yeyita omusirikale era ng’agamba mbu yaakulira ebikwekweto mu Kampala North sso ng’omusajja ono tabangako musirikale wabula nga abadde yakolerera kaadi gyabadde alaga abantu nti musirikale” Omala bwe yagambye.

Yategezezza nti Byamukama alabika abadde atisatiisa okukwata abantu ssaako n’okubaggyamu ssente ng’ekintu kino alabika akikoledde ebbanga eriwera.

Ye akulira poliisi y’ebidduka ku CPS Ruth Kyobutungi yagambye nti okukwata Byamukama yasangiddwa ng’atisse abasaabaze babiri ku pikipiki ye era abasirikale abaabadde ku luguudo bwe beekenenyeza n’ebakizuula nti yabadde alina kaadi engingirire era mbu musirikale ne bamutwala ku poliisi naggalirwa.

 

Eyeyise Afande Omala gamumyuse

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

Batabukidde omusamize mu lu...

ABATUUZE b’e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n’abawamba...

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abaserikale musse ekitiibwa...

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda...

Omusomesa ng'akebera omuyizi corona virus.

Minisitule y'ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka mu birina okusomesebwa abayizi ba P7 abazzeeyo ku masomero n’ab’ebibiina...

Zzimula n'embuzi ze.

EMBUZI GYE BAMPA MU MUSOMO ...

ZZIMULA , mutuuze w’e Busega Kibumbiro zooni B mu munisipaali y'e Lubaga mu Kampala. Muluunzi wa mbuzi era yazizimbira...