TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukuumi asse nnannyini bbaala mu bukambwe lwa kumubanja

Omukuumi asse nnannyini bbaala mu bukambwe lwa kumubanja

Added 26th December 2013

OMUKUUMI atabuse n’abakozi b’omu bbaala okuli ne nnyini yo e Kabowa gye yabadde agenze okunywa n’abaka emmundu n’abakuba amasasi agasse omuntu omu omulala n''addusibwa mu ddwaaliro e Lubaga ng’ataawa.



Bya Eria Luyimbazi

OMUKUUMI atabuse n’abakozi b’omu bbaala okuli ne nnyini yo e Kabowa gye yabadde agenze okunywa n’abaka emmundu n’abakuba amasasi agasse omuntu omu omulala n'addusibwa mu ddwaaliro e Lubaga ng’ataawa.

Bino bibaddewo enkya ya leero ku Lwokuna ku ssaawa 3:00 mu Ssembule zooni, Vicent Gumisiriza, omukuumi bw'akutte emmundu n’akuba nnannyini bbaala ya Hope Bar and Guest House, Oliver Azairwe, amasasi agamutiddewo ne galumya n'omukozi we eyategerekeseeko erya Jannifer n'addusibwa mu ddwaliwro e Lubaga ng’ali mu mbeera mbi.

Simon Kazoora abaddewo nga bino bibaawo yagambye nti Gumisiriza yagenze mu bbaala eno n’anywa omwenge kyokka n’agaana okusasula ne basalawo okumugoba kyokka ne yerema okucaawo kwe kusalawo bamuyiire amazzi n’abalabula nga bw'agenda okubatuusako obulabe singa tebakomya kumuyiira mazzi.

Abantu nga bakung'aanidde ku bbaala Gumisiriza we yakubidde amasasi.

“Twabadde tuli wano Gumisiriza n'ajja n'asaba omwenge kyokka bw'amaliriza ne bamusaba ssente n'agaaana okusasula ne bamusindikiriza okufuluma era n’agaana okufuluma kwe kumuyiira amazzi n’afuluma ng'awera okukolawo akabi,” Kazoora bwe yategeezezza.

Kazoora yagambye nti waayise akaseera katono Gumisiriza agenze mu Dipo y’amafuta ga kkampuni ya Petro n'aggyayo emmundu n'atandika okukuba amasasi agaakwasizza omukozi Jennifer eyabadde mu kusiimula. Bwe yalabye Jennifer agudde wansi n’akuba ne Azairwe eyabadde mu kiyungu amasasi agaamutiddewo.

Oluvannyuma lw’okukola ettemu lino Gumisiriza yazzeeyo mu ddipo y’amafuta gy'akuuma n’asibawo geeti mu ngeri y'okwekweka aleme kukwatibwa!

Poliisi eyakulembeddwamu DPC w’e Katwe Ibrahim Saiga yazze mu kifo kino n'ewalirizibwa okuwalampa ekikomera kya ddipo eno oluvannyuma lw’okulagira abaabadde munda okuggulawo ne bagaana.

Afande Saiga ng'alinnya ekikomera kya ddipo okukwata Gumisiriza

Gumisiriza eyabadde akutte emmundu ne munne Patrick Odeke bombi bakwatiddwa. 

Kigambibwa nti Gumisiriza mukuumi mu kkampuni ya Saracen wabula abagikulira baamwegaanyi nga bagamba nti tabangako mukozi waabwe.

Gumisiriza yatwaliddwa wakati mu bukuumi obwamaanyi ku poliisi e Katwe okusobola okutangira abatuuze abaabadde baagala okumutuusako obulabe.

Omulambo gwa Azairwe gwatwaliddwa mu ggwanika mu ddwaliro e Mulago oluvannyuma lwa poliisi okuggulawo fayiro nnamba SD 19/26/12/2013.

Azairwe alese abaana babiri.

Afande Saiga n'abapoliisi be yaduumidde nga bawalaawala Gumisiriza oluvannyuma lw'okumukukunula mu ddipo y'amafuta mwe yabadde yeekwese, Ebifaananyi byonna bya Era Luyimbazi.

Omukuumi asse nnyini bbaala mu bukambwe lwa kumubanja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'olulyo Olulangira bafulu...

EKIWANDIIKO KU MBEERA YA KABAKA OKUVA MU BOOLULYO OLULANGIRA

Endabirira y'akamwa n'amannyo.

▶️ Olabirira otya akamwa n'...

▶️ SSAAYANSI W'OBULAMU; Olabirira otya akamwa n'amannyo.  

Yiga okukola emisubbaawa awaka.

▶️ Yiga okukolera emisubbaa...

▶️ Yiga okukolera emisubbaawa awaka ofune ensimbi.

Dr. Specioza Wandira ng'annyonnyola.

▶️ Dr. Specioza Wandira aku...

▶️ Dr. Specioza Wandira akubirizza abantu okugenda babageme Covid 19.

Natalie E. Brown

Omubaka wa Amerika mu Ugand...

OMUBAKA wa  Amerika mu Uganda Natalie E. Brown ayagalizza  Abasiraamu ekisiibo  ekirungi n'agamba nti kino kibeera...