TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi erangiridde ennaku 90 ez'okufuuza ababbi e Nansana

Poliisi erangiridde ennaku 90 ez'okufuuza ababbi e Nansana

Added 5th January 2014

OMWAKA 2014 gugenda kubeera gwa kasandali eri ababbi b’e Nansana oluvannyuma lw’afande Muhamed Kirumira atwala poliisi yaayo okulangirira ennaku 90 ez’ebikwekweto e Nansana.



Bya FRED KAYONGO ne HELLEN NAGAWA

OMWAKA 2014 gugenda kubeera gwa kasandali eri ababbi b’e Nansana oluvannyuma lw’afande Muhamed Kirumira atwala poliisi yaayo okulangirira ennaku 90 ez’ebikwekweto e Nansana.

Kirumira okwogera bino abadde yaakamala okukola ekikwekweto mw’ayooledde abavubuka abawera 25 nga bano bateeberezebwa okuba nti be batigomya abatuuze b’e Nansana ne Kampala yenna.

Nansana ky’ekimu ku bitundu ebisibukamu ababbi abaamanya abatigomya abatuuze b’e Nansana n’ebitundu ebiranyeewo nga muno mw’otwalidde ne Kampala yenna.

Kirumira alaze abamu ku babbi bano n’agamu ku mannya gaabwe nga muno mwe muli n’omukyala amanyiddwa nga Annet ng’akola nga maalaya wabula bw’atuuka mu loogi n’abasajja nga olwo ayita abavubuka babba nga banyaga omuntu oyo.

Nansana esangibwamu ebibinja by’ababbi okuli abasazi b’ensawo nga bano bateegera ku luguudo lwa Nothern Bypass n’e Namung’oona mu Lubigi ne ku Kibulooka.

Abamu ku bano kuliko amanyiddwa nga Fred Maato, Medi, Kasujja nga batera kumuyita ‘Sugi’.

Bano poliisi egamba banoonyezebwa era banoonyerezebwako.

Ababbira mu takisi

Bano abasinga basula Nansana West II Zooni nga takisi zino zisimbula Namung’oona olwo ne zigenda okutuuka e Busega ne ziyingira Kampala ne bayitamu okutuuka e Bweyogerere olwo ne badda ku luguudo lwa Northern Bypass ne baddayo e Namung’oona mu Lubigi we baatandikidde nga wano wonna bagenda banyaga bantu abalinnya takisi eyo.

Ekibinja kino kirimu akiduumira ‘Seru’ ng’ono agambibwa okuba mutabani w’omuyimbi wa kadongokamu owerinnya mu ggwanga n’omulalala eyeeyita Medi ng’ono ye mumyuka we.

Abatambuza ebicupuli
Kirumira yategeezezza nti, bano ebicupuli babitambuliza mu mmtoka zaabuyonjo nga Ipsum, Harrier n’endala olwo ne bagenda nga babitambuza mu balina bizinensi za ‘mobile money’. Kirumira agamba nti mu bano kuliko Asse, Macupa, Herbat, Twaha, Kamada Ronald Kisuule n’abalala.

Ababodaboda balabuddwa
Abalina bodaboda ze mutereka mu pakingi Kirumira agamba nti bano basooka kukwana abaserikale abakuuma olwo ne batandika n’okubagulira ebyokulya ebirimu kalifoomu ekiddako kuba kusomba bodaboda nga bazipakira mu mmotoka eziringa zitambuza emigaati omutali mitto na madirisa.

Ku bano kuliko Sula, Mudidi, Sam, Dan era akatale kaabwe kali Katwe ne ku Kavule gye zitemerwa sipeeya n’okuzitunda mu sikulaapu ku byuma ebitakyalina mugaso.

Enjaga e Nansana
Kirumira agamba nti enjaga etundibwa mu Kampala eva Nansana ereetebwa amanyiddwa nga Siraje okuva Arua ng’ejjira mu mmotoka ya Fuso eriko ekigamba Kikankane.

E Nansana egulibwa eyeeyita Musiraamu abeera mu Kibwa e Nabweru ng’ono alina ekibanda kyayo mu Lubiji mu kiyumba ky’enkoko z’omukyala amanyiddwa Najjemba.

Waliwo n’amanyiddwa nga Abaasi ono agitundira ku lutindo lw’e Kawaala era kigambibwa nti ono y’agisaasaanya mu bitundu by’e Bwaise, Kikoni, Kawaala n’awalala.

Ebifo gye babeera;
Kirumira agamba nti ababbi bano basinga batera okuyitirako ku Paradise, ku Eliot nga bano baba baguumiise abantu abayita e Nakulabye, ne Namung’oona ku Luyinja.

Ababbi bano be bamu abanyagira ku Bitaala e Wandegeya, ku Nandos e Kibuye ku Madaala era kigambibwa basula Kawaala.

Ebibinja ebitigomya Kampala
1.Waliwo Prison Break nga bano b’e Nakulabye.
2.Kifeesi bano b’e Makindye kyokka bano bannaabwe bataano bakwate.
3.B13 bano basinziira Kisaasi okutigomya abalala.
4.Kasolo Group b’e Kawempe kyokka kigambibwa nti kino ekibinja kinafuye.

Poliisi erangiridde ennaku 90 ez’okufuuza ababbi e Nansana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...