
Bya JOSEPHAT SSEGUYA
EBBUGUMU lyeyongedde mu nkiiko eziteekateeka embaga y’abayimbi Geoffrey Lutaaya ne Irene Namatovu aba Eagles Productions.
Ku bukadde 300 ze beetaaga okuteekateeka embaga eno, bamaze okufuna obukadde 199. Embaga yaakubaawo nga January 25, 2014.
Embalirira eraga obukadde 220 kyokka ng’omuwanika, Mesach Ssemakula yategeezezza nti balina ebintu bingi ebibalirirwamu obukadde 80 bye bataateeka ku bajeti olw’obutayagala kukanga bantu n’okulwoooza nti ya kweraga so nga bo ng’abateesiteesi baayagadde kusanyusa Lutaaya ne Irene.
Enkiiko z’embaga zituula buli Lwakusatu ku Hotel Africana era bw’ozituukamu oyinza okulowooza nti kivvulu.
Anti ekisenge mwe bateeseza kijjula ne kikubako naye nga mu bazze mubaamu n’abo abaliwo okunyumirwa emiziki abayimbi gye bakuba ng’olukiiko bwe lugenda mu maaso.
Abagole baakugattibwa mu kkanisa ya Kijjabwemi mu Masaka n’oluvannyuma basembeze abagenyi baabwe e Mityebiri ku kyalo kwe bazaala Lutaaya.
Embaga eno esuubirwa okulagibwa obutereevu ku Bukedde ttivvi kwe kugamba abanti abatasobola kutuuka Masaka nabo bagyote buliro.
EBIMU KU BIRI MU BAJETI Y’EMBAGA
- Soda kuleeti 300, obukadde 8 Bbiya ne ‘spirits’ bukadde 24
- Emmere, bukadde 24
Keeki n’ebigenderako, bukadde 16 - Okutimba ekkanisa, ekidaala, emmotoka n’ebirala kwa bukadde 30.
- Namatovu nga yeebaza.
- Eyatayimu, amafuta n’entambuza y’abagole n’abayambi baabwe saako ebintu by’embaga okugenda e Mityebiri mu Masaka n’okudda (okuva ku Lwokutaano okutuuka ku Ssande lwe banadda), bukadde 30
- Ennyonyi nnamunkanga okuggye abagole ku kkanisa, bukadde 10m
- Ebyokwerinda, bukadde 2
- Aboogezi, bukadde 3
- Abayambi n’abategesi b’omukolo, bukadde 6
- Obusiki busatu, bukadde 25. Obubiri bwakubeera mu Kampala ate akasembayo e Masaka.
- Weema ennene (eza Himalaya), bukadde 18
- Ebifaananyi ne vidiyo, obukadde 12
- Saluuni, bukadde 6
- Okwambala kw’omugole n’emperekeze mukaaga nga bakukyusa emirundi esatu, obukadde 28.
- Gawuni yokka yabaliriddwaamu obukadde 12 era nga yavudde Bungereza.
- Eby’okwewunda n’ebyokwambala ebirala, bukadde 5
- Tikiti y’ennyonyi e Bungereza n’okutikka emigugu, bukadde 9
- Omugole omusajja n’abamuwerekera, bukadde 22
- Kaadi z’embaga, bukadde 8
- Ebyuma, bukadde 10
- Kuno kwossa ebintu ebirala bingi abateesiteesi bye baasabye bisirikirwe.
Embaga ya Lutaaya ne Irene Baakasonda Obukadde 199