
Bya MUSASI WAFFE
EKIBUGA Malakal, ekisangibwa mu ssaza lya Upper Nile, erisimwamu amafuta mu South Sudan, kiwunya musaayi olw’okutting’ana okw’ekyeyonoonero wakati w’abajaasi ba gavumenti ne bakyewaggula abaakiwambyeko ekitundu ekisinga obunene. Kye kibuga ekiddirira Juba obunene.
Emirambo gy’abajaasi ba gavumenti aba SPLA n’egya bakyewaggula aba Dr. Riek Machar giri buli wamu ng’ekisinga kitandise okuwunya kyokka tewali agiyoola kubanga okulwana kukyagaanyi okusirikamu okuva ku Lwomukaaga lwe kwabaluseewo .
Bakyewaggula ba Machar baalumbye Malakal okuva ku buli ludda nga beeyambisa emmundu ennene, emizinga ne ttanka ennwaanyi ne bubeefuka n’amagye ga SPLA agayambibwako Uganda.
Bakubaganye empawa:
Omukutu gw’amawulire ogwa Sudan Tribune gwategeezezza nti bakyewaggula kati bafuga ebitundu 90 ku 100 eby’ekibuga kyokka okulwana kukyali kwa maanyi kubanga amagye ga SPLA gakyafunvubidde okukyeddiza.
Abantu ba bulijjo baatandise okudduka ekibuga kino era waliwo ekibinja ky’abantu abasukka mu 200 abaagudde mu mugga Nile ne bafa, eryato kwe baabadde basaabalira bwe lyayabiseemu.
Embeera mu kibuga Malakal, ya kulwana kwereere ng’amasasi, emizinga n’ebikompola bivuga obutasalako era amayumba g’abantu n’ebizimbe bingi byonooneddwa.
Omwogezi wa bakyewaggula, Brig. Lul Ruai Kong yagambye nti bali mu kugogola Malakal okumalamu empulunguse n’abazaalwanyi ba Kiir, kyokka omwogezi wa Pulezidenti Kiir, Ateny Wek Atenyi yabisambazze n’ategeeza nti Malakal kikyali mu mikono gya gavumenti.
Wabula Brig. Kong yagambye nti ekibuga Malakal, amagye gaabwe gaakiwambye ku ssaawa nnya nga basoose kuwamba ekitundu Baliet ne Dolieb gye yagambye nti baakubye amagye ga Kiir ne bagaleka mu kkubiro.
Dr. Machar yakakasizza ng’abalwanyi be bwe baatuuse ku buwanguzi n’annyonnyola nti okuggyako ekitundu Renk ne Melut, ebifo byonna ebisigadde mu Malakal biri mu mikono gyabwe.
Yagasseeko nti abajaasi be baawambye emmundu ennene 500 z’ekika kya AKM, 30 ez’ekika kya RPG ezikola embikompola, 90 ez’ekika kya PKM wamu n’emmotoka z’amagye.
Wabula omwogezi w’amagye ga SPLA, Col. Phillip Aguer yagambye nti okulwana kukyagenda mu maaaso mu kibuga Malakal, n’awakanya ebya bakyewaggula nti baawambye kibuga kino.
Ensonda e Juba zaategeezezza nti Pulezidenti Salva Kiir yalagidde abajaasi abalala 2,500 okugenda e Malakal okuyambako mu kulwanyisa abeewagguzi.
Amasimu gaggyiddwaako:
Olw’embeera ey’okulwana eri mu kibuga Malakal, kigambibwa nti gavumenti yasazeewo okuggyako amasimu gonna mu kibuga kino n’ebitundu ebirinaanyeewo okulemesa bakyewaggula okuwuliziganya.
Okulwana e Bor:
Amagye ga SPLA gaakoze olulumba olw’amaanyi ku kibuga Bor ku Lwokusatu, emizinga ne bbomu ne biyuuguumya ekibuga kino ekikyali mu mikono gya bakyewaggula ba Dr. Machar.
Okulwana kwatandise ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu kyokka amagye ga gavumenti tegaasobodde kukiyingira.
Dr. Machar yategeezezza ekitongole ky’amawulire ekya South Sudan News Agency (SSNA) nti abalwanyi be baasobodde okulemesa amagye ga Kiir agaabadde gabalumbye mu kitundu kye Gut Makur mu mayiro nga 12 okuva e Bor kyokka ne babazzaayo emabega.
Emmundu etokokota e Malakal ey''e South Sudan