
Bya SHAMIRAH NABIDDO
LOOYA omukazi amaze wiiki nnamba ng’akulungutana okutuusa lwe yesse ku nkomerero ya wiiki ewedde.
Omukozi w’awaka Nusurah Nalweyiso agamba nti mukama we Fridah Turyasingura 30, ekiseera kyonna abadde mweraliikirivu ng’akuba amasimu n’okuweereza obubaka kyokka nga kirabika gw’akubira abadde tamuddamu!
Nalweyiso agamba nti abadde yaakakolera wiiki ssatu yategeezezza nti ku Lwokusatu mukama we teyasula waka kyokka olwadda n’amubuuza lwaki teyakomyewo kwe kumutegeeza nga bwe baafiiriddwa ku muliraano gye bakola nga yasuze mu lumbe.
Wabula yamugambanga bino nga naye amulaba mweraliikirivu ekisusse nga kirabika waliwo ekimumazeeko emirembe.
Mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano Tulyasingula lwe yesse yagezezzaako okweyabiza Nalweyiso ku ssaawa nga 3.00 ez’ekiro wabula oluvannyuma ne yeekuba ng’agamba nti akyali mwana muto era ekiro kyonna kirabika teyakombye ku tulo.
“Bwe zaaweze ssaawa 10.00 nga bukya yanzuukusizzankume essigiri nteekeko amazzi era bwe nnamubuuzizza nti
lwaki leero akedde nnyo n’agamba nti agenda kukola. Natidde okumutenguwa ne ng’enda ebweru okukuma essigiri.
Nnamulese aggyeeyo essuuti ne ndowooza nti gye yabadde agenda okwambala wabula enviiri zaanvudde ku mutwe bwe nnamusanze ng’alengejjera ku mulabba nga yakozesezza gawuni ye mwe baamutikkirira okwetuga,’’ Nalweyiso bwe yalombozze.
Bino byabadde mu Katale Zooni e Mulago nga kigambibwa nti Turyasingura, abadde looya wa kkampuni ya Lwakafuzi, yesse lwa muganzi we kugaana kumusisinkana.
Nalweyiso yayise baliraanwa naye nga teri anyega okutuusa lwe yayimirizza omusajja wa bodaboda amuyambe.
Baagenze ku poliisi ya Kapapaali e Mulago era akulira poliisi eno, Richard Waiswa n’alagira omulambo gutwalibwe mu ggwanika e Mulago.
Waiswa yategeezezza nti mu ssimu ya Turyasingura mwasangiddwaamu obubaka nga busaba okusisikana omusajja eyategeerekeseeko erya Nesiima nga kirabika amaze ebbanga ng’amukubira amasimu ag’okumukumu. Wabula poliisi bwe yakubye ku ssimu eno nga nnannyini yo takwata .
Omusajja omulala gwe babadde baayawukana naye ennamba ye yasangiddwaako akagambo ‘EX’ ekisuubirwa nti yali bba nga nayo poliisi yagezezzaako okugikuba nga tekwatibwa.
Muganzi we agaanyi okukwata essimu ne yetta