TOP

Abatuuze bookezza essabo omwafiiridde omuntu

Added 4th March 2014

Abatuuze b’e Namasuba bavudde mu mbeera ne bateekera omuliro essabo ly’abasawo b’ekinnansi ne libengeya oluvannyuma lw’omuntu okufiiramu bwe yabadde agenze okumujjanjaba.Bya Eddie Ssejjoba

Abatuuze b’e Namasuba bavudde mu mbeera ne bateekera omuliro essabo ly’abasawo b’ekinnansi ne libengeya oluvannyuma lw’omuntu okufiiramu bwe yabadde agenze okumujjanjaba.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Mmande mu Zooni ya Pala e Namasuba nga lyabadde lya musawo amanyiddwa nga Mususuuti.

Poliisi ennawunyi n’ey’e Namasuba zaatuuse mu kitundu kino ne ziggya omulambo gw’omusajja mu ssabo kyokka abaliddukanya nga baadduse.

Ssentebe wa LC1 mu kitundu kino, Asuman Butatira yategeezezza nti abatuuze baalabye omulwadde eyatwaliddwa mu ssabo lino ku Lwokutaano kyokka ne bataddamu kumulaba ng’afuluma ate ku Ssande akawungeezi abatuuze ne balaba
abasawo nga bakukuta n’omulambo kwe kutemya ku poliisi.

Butatira yategeezezza nti wiiki bbiri eziyise omuntu omulala yafiiridde mu ssabo lino era abatuuze ne batemya ku poliisi eyakutte abasajja bano kyokka ne bayimbulwa nga bawaddeyo ebiwandiiko bye bagamba nti baabifunye mu batwala abasawo b’ekinnansi.

Atwala ebyamawulire ku LC eno, Godfrey Banadda yagambye nti landiloodi w’ekifo kino eyategeerekeseeko erya Luyombo
eyapangisa abasajja bano okukolera mu kitundu naye yadduse nga bamunoonya abannyonnyole ebikwata ku basawo bano.

Yannyonnyodde nti, abasawo bano baagobwa mu Zooni ya Kalina e Namasuba kwe kusenga wano naye nga kigambibwa nti gye baava baagobwa lwa kwenyigira mu bikolobero.

Amannya g’eyafudde tegaategeerekese era omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago.

Abatuuze bookezza essabo omwafiiridde omuntu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...