TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sematimba yeekyusizza: '' Sigambanga kuva mu byabufuzi''

Sematimba yeekyusizza: '' Sigambanga kuva mu byabufuzi''

Added 17th March 2014

Paasita Peter Sematimba yeegaanyi ebigambo bye yayogera nga bwe yali awummudde ebyobufuzi oluvannyuma lw’okuwangulwa akalulu k''obwa Loodi Meeya mu 2011. 

 

BYA MOSES NSUBUGA

Paasita Peter Sematimba yeegaanyi ebigambo bye yayogera nga bwe yali awummudde ebyobufuzi oluvannyuma lw’okuwangulwa akalulu k'obwa Loodi Meeya mu 2011.

Kino kiddiridde bannamawulire okusoya Ssematimba kajjogijjogi w'ebibuuza lwaki akomyewo mu byobufuzi bye yawummula yeekokkola n'abaddamu nti yava mu kalulu k'obwa Loodi Meeya kuba yali awanguddwa so ssi byabufuzi.

Bino Sematimba yabyogeredde ku kitebe kya NRM ekisangibwa ku luguudo lwa Kyadondo abeesimbyewo bonna abana mu kamyufu ka NRM okuli; Twaha Najja , Peter Sematimba, Fred Kazibwe, ne Meddie Kasule mwe bakkaanyizza ku ngeri gye bagenda okutambuzaamu kampeyini z’okusunsulamu anaatwala kaadi ya NRM mu kalulu k'obwa Loodi Meeya akabindabinda.

Wabula Polof. Elijah Mushemeza amyuka akulira ebyokulonda mu NRM yagambye nti tebalina nkalala z'abalonzi ekitegeeza nti tebamanyi muwendo mutuufu ogw'abantu ba NRM abagenda okulonda.

“Tugenda kukozesa bwasseruganda okumanya abalonzi era ab'akakiiko k'ekyalo be bagenda okusalawo ani alina okulonda n’obutalonda,” Mushemeza bwe yannyonnyodde.

Dorothy Kisaka kamisona w’ebyokulonda Mu NRM yagambye bafulumizza pulogulamu kampeyini kwezigenda okutambulira okuva nga 19 e Nakawa okutuusa nga 30 okubala obululu nga kuwedde. Era n'asaba oyo yenna alina okwemulugunya kwe ku kulonda kuno akutwaleyo nga 31 omwezi guno.

Wabula oluvannyuma lw'olukiiko okwabuka, abamu ku bammemba ba NRM balangidde Paasita Sematimba okuswaza erinnya lya NRM olw'okwesimbawo kyokka nga akyali mu mivuyo gy'okwagala okwekomya ebyobugagga bya Paul Sebalu.

 

................................................................................................................................

Ebirala......

 

.................................................................................................................................

Aba NRM abalala 3 beewandiisizza okuvuganya ku kya Loodi Meeya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....