TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi wa Dubai electronics akoze olutalo ku buko

Omusuubuzi wa Dubai electronics akoze olutalo ku buko

Added 26th April 2014

NNANNYINI Dubai Electronics yabadde ku mulimu ku kizimbe kya Galiraaya, mukwano gwe n’amukubira essimu ng’alaba omukazi atikka ebintu ku loole anoba.



Bya ALI KIZZA
NNANNYINI Dubai Electronics yabadde ku mulimu ku kizimbe kya Galiraaya, mukwano gwe n’amukubira essimu ng’alaba omukazi atikka ebintu ku loole anoba.

Emmotoka yagirese ku William Street mu Kampala w’akolera n’afuna bodaboda eyamuddusizza okumutuusa mu Nanfuka Zooni e Nateete we balina amaka, wabula yagenze okutuuka ng’omukazi yabuzeewo dda era enju enkalu ye yamwanirizza.

Mayanja ng’alambuza akola ku nsonga z’amaka ku poliisi y’e Nateete, Christine Namale, awaka.

Eno ye yabadde emmanduso y’olutalo Abdukarim Mayanja 35, owa Dubai Electronics lwe yakoledde ku buko ng’abanja ebintu mukazi we Fatuma Babirye 28, bye yanobye nabyo.

Mayanja yasoose ku poliisi e Nateete n’aggulawo omusango ng’avunaana Babirye okubba ebintu by’omu nnyumba byonna era ng’ayagala akwatibwe abimuddize.

Yasitudde abapoliisi abaavudde e Nateete ne beegattibwako ab’e Bulaga-Bulenga ne balumba amaka ga maama wa Babirye agali mu Nakabugo Zooni okumpi n’e Bulenga ku lw’e Mityana.

Baasanze Hajati Fatuma Nambajjwe ayera luggya ng’ali ne muwala we Babirye era olwalabye Mayanja ng’akulembeddemu abaserikale, omuwala ne yeekuba mu kisenge ne yeesibiramu.

MAAMA W’OMUWALA ALANGIDDE OMUSAJJA OBUKOPI
Wano Hajati Nambajjwe we yatandikidde okwogerera Mayanja ebisongovu n’amulangira obukopi.

“Weeyita omugagga naye okuva lwe wawasa muwala wange tolina ky’omuwa. Okugula ekitanda n’omufaliso nnamala kukutwala ku LC, n’amasuuka okugagula lwali lutalo.

Babirye Fatuma muka Mayanja

” Hajati Nambajjwe bwe yayogedde nga yenna tasalikako musale.

Mayanja yalabise ng’asobeddwa nga nnyina amuzaalira omukyala ayogera taluma mu kigambo n’atuuka n’okumulangira obutayagala kugula bikopo n’amasowaani ne gatuuka okukaddiwa ne gaba ng’agakozesebwa abapakasi!

Hajati Nambajjwe bakira agamba aba poliisi nti: Akasajja kammwe kano mukaggyeewo nga ssinakayisaamu mpi; sikolagana na busajja bukopi. Ndudde nga ngumiikirizza nga ntuula mu nsonga zammwe okubatabaganya naye ntuuse we nkoma.”

Mayanja yasoose kuzza muliro nga bw’alumiriza Hajati obulimba wabula bwe kyamususseeko, ne yeemulula mpola n’adda mu mmotoka ye ey’ekika kya Nisan gye yabadde asimbye ebbali w’ekkubo kyokka Hajati n’asigala ng’amuwereekereza ebigambo.

Babirye naye yaggudde eddirisa ly’ennyumba ne yeegatta ku nnyina okuyiira Mayanja olunyata.

Babirye yagambye nti: Emyaka esatu gye mmaze naawe ginsaze busazi. Akamotoka ke wangulira ng’ompasa wakanzigyako ate nga wang’aana n’okukola; ne ntuuka n’okusaba maama ssente ezigula obuwale nga bwe nnafumbirwa nabwo buyulise!”

Okumanya Babirye yanobye mukoowu, n’ekitanda ekyamulemye okutwala yalese akimenye, bombi bakifiirwe. Abaana abasatu b’amulinamu nabo yanobye nabo ng’agamba nti omusajja adda mu bya kucakala ne yeerabira obuvunaanyizibwa bw’awaka.

Yagasseeko nti bba yeeyita mugagga kyokka n’akayumba mwe basula kabaswaza ebitalojjeka.
Mayanja yawoowebwa ne Babirye nga August 24, 2008 era ne basooka babeera bulungi kyokka obugugulano ne butandika mu 2011 nga Babirye alumiriza Mayanja okumalira ssente mu bakazi abalala n’amukuumira mu mbeera ey’obuyinike era emyaka esatu gye bamaze okuva olwo gibadde gya mbirigo.

Ensonga zaasukka ku b’akakiiko ka LC olwo ne babawa amagezi okuzitwala mu bannaddiini b’e Kampalamukadde abaabawoowa era Babirye n’atwalayo okusaba okwawukana ne Mayanja wabula omusajja n’agaana ng’agamba nti mukazi we akyamwagala era n’asuubiza okukyusa mu nneeyisa, Babirye ky’agamba nti tekituukiriranga.

Poliisi yawadde Mayanja amagezi okuvaawo olwo Babirye alyoke yeetwale ku poliisi e Nateete yennyonnyoleko.

Mayanja yawakanyizza ekya Hajati Nambajjwe okumusaba lisiiti ku bintu bye yabadde agenze okukima n’agamba nti ono kiremya kubanga si buli kintu ky’ogulira awaka nti bakigabirako lisiiti!

Mayanja y’ani?
Mayanja alina amaduuka ga Dubai Electronics agawerako mu Kampala n’e Masaka era alina n’emmotoka ezitambula nga ziranga ebintu by’atunda.

Abeera nnyo mu bifo ebisanyukirwamu era yali mukwano gw’omugenzi Paul Kafeero era olw’okuba baafaananamu, abaabalabanga nga bagamba nti “Oyo muganda wa Kafeero” era naye n’akyagala.

Abeera nnyo mu bifo ebisanyukirwamu era emirundi egimu amansa ssente okweyoleka ng’omugagga, ekintu Babirye ky’azze awakanya nti kimaliriza kikosezza bizinensi n’ennyingiza y’amaka.

Omusuubuzi wa Dubai electronics akoze olutalo ku buko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...