TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Heedimasita wa Old Kampala abuuse mu bbaasi n'agwa n'afa

Heedimasita wa Old Kampala abuuse mu bbaasi n'agwa n'afa

Added 18th June 2014

OMUKULU w’essomero lya Old Kampala P/S abuuse mu bbaasi ebadde ku misinde n’agwa mu luguudo wakati n’afi irawo nga kigambibwa nti yabadde n’ebizibu awaka.



Bya HANNINGTON NKALUBO NE PADDY BUKENYA

OMUKULU w’essomero lya Old Kampala P/S abuuse mu bbaasi ebadde ku misinde n’agwa mu luguudo wakati n’afi irawo nga kigambibwa nti yabadde n’ebizibu awaka.

Omugenzi Arourd Ntungwa, 54, yesse mu kiro ekyakeesezza olwa Mmande bw yabadde ava e Ibanda. Yabadde atambulira mu bbaasi ya kkampuni ya Global nnamba UAT 754U.

Abaabadde naye mu bbaasi bagamba nti baatandise okumulaba e Mbarara ng’alinga alina ekizibu ku mutwe .

“Yabadde atuula asituka nga bw’agula omwenge n’okukaaba. Buli bbaasi bwe yayongedde okudduka ng’ayimuka n’okulaga nti alina ebimutawaanya,” omusaabaze eyasabye amannya gasirikirwe bwe yagambye.

N’ategeezezza nti byonna bye yabadde akola nga talina gw’anyega kyokka nga yeeraliikiriza abaabadde bamutudde okumpi.

Yalabirizza nga bbaasi edduka bulungi era ng’abasaabaze bonna basirise nga n’abasinga beebase n’aggulawo eddirisa okwabadde omutto mwe yabadde atudde n’abuuka.

Yabuukidde Mpambire n’ayita mu ddirisa n’agwa ebweru ku koolaasi. Yayatise omutwe n’okumenyeka okugulu. Bbaasi yagenze okuyimirira bamuyoole nga yakaze dda.

Omuwandiisi mu ofi isi y’omugenzi, Suzan Nakato yagambye nti omugenzi abadde yagenda mu kyalo ku Lwomukaaga.

“Yatugamba nti maama we mulwadde gwe yali agenze okulaba . Tetumanyi kyamutabudde okuwulira nti yafudde era tunoonyereza engeri akabenje gye kazzeemu,” Nakato bwe yagambye.

Ab’oluganda lwa Ntungwa baagaanye okwogera ku mbeera y’omugenzi yonna . Wabula waabaddewo ebigambibwa nti yabadde n’ebizibu awaka .

Akulira poliisi y’ebidduka mu kitundu kya Katonga, Abdul Kalid Gamal yagambye nti bambega baabwe banoonyereza entabwe kwe yavudde okwetta.

Heedimasita wa Old Kampala abuuse mu bbaasi n’agwa n’afa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...