TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muganda wa Bobi Wine bamukutte lubona n'akawala k'essomero

Muganda wa Bobi Wine bamukutte lubona n'akawala k'essomero

Added 9th July 2014

POLIISI y’e Kasangati ekutte omuyimbi Mickie Wine muganda wa Bobi Wine n’omwana w’essomero.



 


Bya Moses Lemisa

POLIISI y’e Kasangati ekutte omuyimbi Mickie Wine muganda wa Bobi Wine n’omwana w’essomero.

Mickie Wine ng’amanya ge amatuufu ye Michael Mukwaaya yakwatiddwa ku Lwokubiri oluvannyuma lw’abazadde b’omwala (amanya garekeddwa) omuyizi musomero erimu erisangibwa e Kyaliwajala mu S.6. okubula awaka era kojja we naamuteekako ba mbega okumunoonyeza.

Hasifa Nakyanzi maama w’omwana omutuuze w’e Kayunga yategeezezza Bukedde ku ssimu nti alina abaaana 14 naye muwala we ono abadde abeera ne Kojja we e Kira.

Nakyanzi yagambye nti mwanyinna ye yamutegeezezza ng’omwana bwe yabadde ababuzeeko okumala wiiki biri nga ne ku ssomero talinyanyayo.

Bambega ba poliisi baakizudde okuva ku mikwano gy’omuwala nti waliwo ew’omuyimbi omu e Magere gyeyabadde yeekukumye era yasitukiddemu.

Okusinziira ku byebaabadde bategeezeddwa mu kunoonyereza kwabwe byabadde biraga nti omuwala yabadde mu maka ga Mickie Wine era baagenze butereevu mu maka ge.

Mickie Wine yakwatiddwa lubona n’omuwala mu kisenge era ne batwalibwa ku poliisi gye bakuumibwa ng’okunoonyerezza okulala bwe kugenda mu maaso .

Mickie nga bakamukwata yakaabye aga julujulu natandiika okukubira mikwano ng’abayita bamufunire ku ssente ensonga azimalirize n’omuzadde nga tanatatuusibwa ku Poliisi.

Oluvannyuma yakubidde Bobi Wine ataasobodde ku mutaasa mu kiseera ekyo natwalibwa ku Poliisi .

Mikie Wine n’omuwala baatwaliddwa ew’omusawo wa Poliisi okukeberebwa oba ddaala kituufu babadde begatta n’omuwala ono

Mickie yasabye bazadde b’omuwala bamusonyiwe nga bwaboneredde era nasuuubizza obutaddamu kuzannyira ku baana b’amasomero.

Barbie mukyala wa Bobi Wine eyasangiddwa ku Poliisi y’e Kasangati yategeezezza Bukedde nti ensonga ziwedde kuba omuzadde abadde ayagala kumanya mwana we gyali ate n’ekirala omwana alina emyaka 20 .

Banne ba Mickie bwebayimba awamu ne muka Bobi Wine bagezezzaako okugulirira maama w’omuwala ave mu nsonga zino nga bamuwa obukade busatu wabula nga ye akyakalambidde ku bukadde musanvu.

Wabula engeri omwana ne nnyina gye babadde batankana emyaka gy’omuwala, poliisi egaanye okujjawo omusango kubanga omuwala abadde akali mu ssomero. Omusango guli ku fayiro namba SD REF 26/8/7/2014 ku poliisi ye Kasangati.

Muganda wa Bobi Wine bamukutte lubona n''akawala k''essomero

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...

Ssentebe wa LC II e Luwero ...

SSENTEBE wa LC II e Luweero yasoose kulaalika babbi ababbye pikipiki ye n'abawa ennaku 10 bagizze we baabadde bagiggye...