TOP

Omukungu wa Gavumenti bamuwambye ne bamutta

Added 11th August 2014

Omukungu wa Gavumenti baasoose kumukubira ssimu ku ssaawa nga 11:00 ez’akawungeezi k’Olwomukaaga, n’asimbula mmotoka ng’agambye bawala be nti, “Waliwo abanneetaaga, naye nkomawo mangu”, kyokka oluvannyuma n’asangibwa ng’attiddwa mu bitundu by’e Seeta eggulo.Bya MADINAH NALWANGA

Omukungu wa Gavumenti baasoose kumukubira ssimu ku ssaawa nga 11:00 ez’akawungeezi
k’Olwomukaaga, n’asimbula mmotoka ng’agambye bawala be nti, “Waliwo abanneetaaga, naye nkomawo mangu”, kyokka oluvannyuma n’asangibwa ng’attiddwa mu bitundu by’e Seeta eggulo.

Eddie Dikusooka, 52, abadde yaakatikkirwa ddiguli eyookubiri mu masomo g’ekikula ky’abantu gye yamaliriza omwaka oguwedde e Makerere era ng’akolera mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda nga y’akulira ensonga z’abanoonyi b’obubudamo abali mu disitulikiti y’e Hoima.

Yavudde mu maka ge e Bweyogerere mu Kigandaazi zooni n’avuga Pajero ye, UAP 787W ng’ayolekera Kireka; kyokka enkeera baasanze mulambo mu luwonko e Kiwanga okumpi ne Seeta okuliraana ennyumba za kkampuni ya Akright ng’emmotoka bagivuze ne bagireka e Kigunga, Mukono.

Omulambo gwe gwasangiddwa omuvuzi wa bodaboda eyabadde akedde okusaabaza abantu, era
yagenze n’ategeeza poliisi y’e Seeta.

We yagitegeerezza ng’abooluganda lw’omugenzi nabo baatandise dda omuyiggo nga bayambibwako poliisi y’e Bweyogerere kubanga baatandise okutya ng’obudde bw’okulya ekyeggulo butuuse kyokka ng’omuntu waabwe takomawo ate nga bwe bakuba essimu ze teri azikwata.

Omulambo gwasangiddwaako ekiwundu ekinene ku mutwe, nga guliko n’ebiwundu by’ebiso mu lubuto.

Abatuuze baategeezezza nti munnaabwe tabadde na buzibu bwonna, wabula bateebereza okuba nti ettemu livudde ku mpalana za byamirimu kubanga tebalina kintu n’ekimu kye baamututteko  n’emmotoka ne batagitwala, ekiraze nti baabadde baagala bulamu bwokka.

Amaka ga Dikusooka e Bweyogerere.

Muwala we omukulu, Peninah Nabirye yagambye nti nnyaabwe yabadde taliiwong’agenze ku mirimu gya gavumenti wabula bwe yalabye  nga kitaabwe takomyewo, kwe kukubira nnyaabwe essimu
era naye yakedde ku Ssande eggulo okunoonya.

Ono ye wookuna okuwambibwa n’attibwa ng’addiridde Isaiah Ssebaggala eyasuulibwa mu Ssezzibwa, Sylvester Bukenya eyasuulibwa e Lugazi mu bikajjo ne Polof. Charles Ssekabembe eyawambibwa
omulambo gwe ne gusangibwa mu mabira ku miguwa.

Omukungu wa Gavumenti bamuwambye ne bamutta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...