TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssenga wa Namanda asonze ku baayiiriddemuwala we asidi

Ssenga wa Namanda asonze ku baayiiriddemuwala we asidi

Added 21st November 2014

ABASUUBUZI ku Container Village ne St. Balikuddembe Owino basonda ssente kutwala bannaabwe abayiiriddwa asidi e Buyindi babalongoosenga beetaaga obukadde 120.

Bya MEDDIE MUSISI

ABASUUBUZI ku Container Village ne St. Balikuddembe Owino basonda ssente kutwala bannaabwe abayiiriddwa asidi e Buyindi babalongoosenga beetaaga obukadde 120.

Olukiiko luno lwatudde ku Container Village ku Lwokusatu nga lwakubiriziddwa Hajji Ramathan Mwebe eyategeezezza banne nti baafunye amagezi okuva mu basawo abakugu batwale abalwadde e Buyindi bafune ku bujjanjabi obusingako.

Abafumbo Kasim Kakaire ne Justine Namanda ab’e Namavundu Gayaza kyokka nga balina amaduuka ku Container Village baabayiiridde asidi ku Ssande ku luguudo lwa Nothern Bypass bwe baabadde mu mmotoka nga bava mu kyalo era bajjanjabirwa mu ddwaaliro e Mulago mu kiseera kino.

Omusuubuzi Robinah Nabbona ye yayanjudde ekiteeso batandike okusonda ssente era n’aggulawo okusonda ne 300,000/- n’abalala ne batandika. Baalonze Hajji Nasser Sserubende abadde akola ne Kakaire okubeera omuwanika era ye ensawo yagitaddemu 500,000/-.

Namanda ne bba Kakaire nga tebanabayiira asidi

Olukiiko nga lutandika abamu ku basuubuzi baasoose kuwanyisiganya bisongovu ne bannaabwe be baabadde balumiriza okuzunza olugambo olukwata ku balwadde kyokka ssentebe n’abalabula okukikomya ne bagenda mu maaso n’olukung’aana.

Yabalabudde nti ne bwe wabeerawo gw ebaasobya kino ekiseera sikyakusalira bantu musango.

Mwebe yannyonnyodde banne nti abasawo bwe baamaze okubawa amagezi g’okutwala bannaabwe e Buyindi ne babaliza nga beetaaga obukadde 120 ye Sserubende yagambye nti nga bali wamu ne poliisi batandise okufuna obubonero obugenda okubayamba okutuukira ddala ku mutemu eyaguliridde abaayokezza bannaabwe asidi.

Yasabye abasuubuzi okubeera abagumiikiriza era balage n’obukakkamu mu buli kye baba bawulidde wabula n’abawa amagezi okwewala okusaasaanya olugambo kubanga luyinza okubuzaabuza Poliisi mu kunoonyereza kwaayo. Abasuubuzi ababadde mu lukiiko baasonze ensimbi ezaasobye mu bukadde buna.

Laba ne bino;

Omuzigu azingizza abafumbo mu mmotoka n'abayiira asidi

Eyayiridde abafumbo asidi ayogedde eyamutumye

Poliisi yaakakwata 3 ku bagambibwa okuyiira abafumbo asidi
POLIISI yakakwata abantu basatu kw’abo omusaanvu beenoonya abagambibwa nti be baali mu lukwe luno olugambibwa okubaamu omukazi alabika okuba nti omu ku bakazi Kassim Kakaire beyaganzaako abaludde nga balondoola Justine Namanda.

Ensonda mu poliisi zigamba nti waliwo omusajja ayitibwa Kabotongo ng’ono alabika ye yayisibwamu olukwe okutuukiriza obulumbaganyi buno, akyabuze ng’ateeberezebwa okuba nti yaddukidde mu bitundu by’e Busoga gye yeekukumye kyokka nga baamutaddeko bambega okumulondoola.

Poliisi egamba nti abantu beyakakwatako bagiwadde amawulire agajja okugiyamba okukwata eyakulidde olukwe luno na buli eyalubaddemu basimbibwe mu kkooti bavunaanibwe.

Namanda ne Kakaire bakyali mu ddwaaliro e Mulago kyokka ng’embeera yaabwe ekyali mbi era kigambibwa nti amaaso ga Namanda tegajja kuddamu kulaba.

Ssenga wa Namanda asonze ku baayiiriddemuwala we asidi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'ewa Kisekka bazzeemu oku...

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose ewa Kisekka nga poliisi egumbulula abasuubuzi ababadde bakedde okwegugunga nga...

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abatuuze gwe balumiriza oku...

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa...