TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC ebala ki okuyita aba NRM mu lusirika lwabwe?

FDC ebala ki okuyita aba NRM mu lusirika lwabwe?

Added 16th March 2015

KIKULU nnyo okuleka omukululo mu byobufuzi. Omugenzi Ignatius Kangavve Musaazi ajjukirwako okutondawo ekibiina ky'ebyobufuzi ekyasooka, ekya UNC mu 1952; Ben Kiwanuka n'ayamba DP okufulumya manifesito mu 1960 nga ky'ekibiina ekyasooka okukikola mu Uganda, ate Maj. Gen. Mugisha Muntu ajja kujjuki

Bya AHMED KATEREGGA 

KIKULU nnyo okuleka omukululo mu byobufuzi. Omugenzi Ignatius Kangavve Musaazi ajjukirwako okutondawo ekibiina ky'ebyobufuzi ekyasooka, ekya UNC mu 1952; Ben Kiwanuka n'ayamba DP okufulumya manifesito mu 1960 nga ky'ekibiina ekyasooka okukikola mu Uganda, ate Maj. Gen. Mugisha Muntu ajja kujjukirwako okuyamba FDC okulangirira enkola yaakyo, nga kye kisookedde ddala okukikola mu Uganda.

Omukolo guno gwabadde mu Kampala Serena Hotel ku Mmande  ewedde. Maj. Gen. Mugisha Muntu yabadde wamu ne munne gwe yaddira mu bigere Dr. Kizza Besigye, ssentebe w'ekibiina Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo, Ssaabawandiisi Alice Alaso n'omukulembeze w'oludda oluvuganya Wafula Oguttu.

Abakulembeze b'ebibiina ebirala nabo baayitiddwa omuli Ssaabawandiisi wa NRM  Justine Kasule Lumumba, akulira CP John Ken Lukyamuzi, owa JEEMA Asuman Basalirwa n'owa Uganda Federal Alliance Beti Namisango Kamya. 

Newankubadde David Pulkol owa UPC yayanjuddwa, naye teyayanjuddwa ng'akiikiridde omukulembeze waakyo Ambasada Olara Otunnu. Ssaabawandiisi wa DP Mathias Nsubuga eyasigirwa obwassenkaggale oluvannyuma lwa Norbert Mao okugenda okuwummulamu, teyayanjuddwa.

Wabula Nandala Mafabi bwe baavuganya ne Mugisha muntu ku bukulemvbeze bwa FDC teyabaddeyo!

Ku luno Maj. Gen. Mugisha Muntu yayogedde n'ennyenje ne zikunkumuka. Muntu ng'akyakulira ekitongole ekikessi n'oluvannyuma omuduumizi wa NRA/UPDF yabanga mwogezi nnyo, ate ng'ayogeza maanyi na bukambwe.

Amaanyi g'omu buto ago ne ku luno Maj.Gen.Mugisha Muntu yagaggyeeyo n'awa essuubi aba FDC n'ebibiina ebirala ebivuganya.

Enkola y'ekibiina

Mu katabo k'enkola y'ekibiina ak'emiko 48, Maj. Gen. Mugisha Muntu ayitaayita mu bizibu bya Uganda n'aleka ng'abinogedde eddagala. Obutafaanana nga Dr. Kizza Besigye eyeekokkola amagye, poliisi, abaserikale b'amakomera n'ebitongole ebikessi, Muntu yamaze ekiseera kinene ku bino n'abiwaana n'akatagga era n'agamba nti ensobi yokka gye birina eri emu ya kukozesebwa muntu omu nti kyokka eyo nayo ya kiseera buseera.

 "Amagye gaffe matendeke nnyo era gakola omulimu gwa ttendo," bwe yannyonnyodde. "Kye gakoze kuno ne mu mawanga amalala kyeyogerera kyokka," bwatyo bwe yagawaanye ku kuzza emirembe e DR Congo, Somalia, South Sudan, Central African Republic n'awalala.Yazzizzaako poliisi nayo n'agitenda okukwasisa amateeka n'ebiragiro, n'awaana abaserikale b'amakomera, ne Pulezidenti Museveni b'atatera kwogerako, n'azzaako ebitongole ebikessi, ab'oludda oluvuganya bangi bye beekokkola!

Olaba n'abakozi ba Gavumenti abantu be beekokkola olw'enguzi, nabo Gen. Muntu teyabeekokkodde nnyo okuggyako okugamba nti bakozesebwa mu byobufuzi! 

Ku demokulaasi, yagambye nti asaanidde ddala kutandikira mu bibiina byabufuzi byennyini era n'asaasira ebibiina ebimu (teyabyogedde) bye yagambye nti demukaasi ali ku ndeboolebo, obuyinza bibutuumye mu muntu omu. 

Okuyita b'avuganya

Naye okuyita abantu nga Muky.Kasule Lumumba ne Beti Kamya okubeera ku mukolo guno, kaabadde kabonero ka nkukunala.

Muntu yasuubizza okusitula ebyenfuna n'embeera z'abantu omuli ebyenjigiriza n'ebyobulamu. Yasuubizza okussaawo bbanka y'abalimi. 

Bbanka y'abalimi yatandika okwogerwako mu biseera bya Gavumenti ya UNLF mu 1980 kyokka n'ey'abeegassi olwo gye baali besigamiziddwaako, yaggalwawo n'etundibwa. 

UCB eyamanyibwanga nga bbanka y'abantu okuva mu gy'enkaaga eyo yaguzibwa ba Stanbic mu South Afrika ate Uganda n'etekwatibwa nsonyi kukkiriza Kenya Commercial Bank okukolera wano!

Muntu era yasuubizza okussa amaanyi ku kunoonyereza ku byobulimi, obulunzi n'obuvubi n'asuubiza okumalirawo ddala akawuka akalya ebitooke n'ak'emmwaanyi. 

Ensuku nnyingi naddala mu Masaka n'ennimiro z'emmwaanyi zisaanyeewo olw'akawuka kano nga Gavumenti ez'ebitundu tezifuddeeyo kussaawo mateeka makakali agagaana okutambuza obulwadde buno n'okubonereza abo abatafaayo kusigula na kwokya bitooke byabwe n'emmwanyi ebiba bikwatiddwa.

Ssaabawandiisi wa FDC, Alice Alaso yategeezezza nti aba FDC baabakulembera abalala ne bagoberera "Ffe twasuubiza okuggyawo omusolo gw'omutwe omugereke, n'oluvannyuma Palamenti n'ekibuukira n'eguggyawo," bwe yeewaanye!

Omubaka Semuju Ibrahim Ng'anda (Kyaddondo East) yagambye nti olusirika lwe balimu e Luweero baali ng'abaabiza FDC olumbe nti era yali agivuddemu, nti kyokka ate ku Kampala Serena, balinga abaabadde baalula omwana amaze okuzaalibwa n'agamba nti Maj.Gen.Mugisha Muntu yabataddemu essuubi lingi. 

Gen. Muntu asuubizza okusikiriza bayinvesita okukolera kuno kyokka ng'essira ajja kuliwa bamusigansimbi bannansi. Kino kyasanyusizza nnyo abaabadde bamuwuliriza ng'abasinga bakulembeze ba FDC ku matabi g'oku disitulikiti, olw'okuba Pulezidenti Yoweri Museveni bamukukota nti asinga kukitiza n'abagwira naddala Bamuyindimuzungu.

Wabula okwogera ku kugogola ebyobufuzi n'ebyenfuga n'okwongera obuweereza mu bantu, FDC n'eteyogera ku kya kuzzaawo nfuga ya federo oba okuseeseetula obuyinza okubuggya ku gavumenti eya wakati okubuzza mu z'ebitundu ez'omuzinzi nga Buganda, Busoga, Bunyoro, Acholi, Lango , kyalaze nti n'aba FDC bakkiririza mu kwetuumako buyinza. 

Aba NRM omuli Sarah Kagingo, guno omukolo baagwogeddeko ng'ogukomezza omuze ogwali gutandikiiriziddwa Dr. Besigye ogw'okwekalakaasa n'okwegugunga, nga kati FDC tegenda kuba nkozi ya ffujjo wabula egenda kukozesa kuvuganya kwa bwongo. 

Alaso yasuubizza nti kino kituuza butuuza ku kigenda okubeera mu manifesito. Ku kyabadde wali Maj.GenMugisha muntu omusubya kirala n'otomusubya kwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2016 era awo we bagenda okuttunkira ne Nandala Mafabi olw'okuba naye ky'ayagala. 

FDC ebala ki okuyita aba NRM mu lusirika lwabwe?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...