TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ezudde akapapula okuli ebigambo bya Faaza Kisomose ebyasembyeyo

Poliisi ezudde akapapula okuli ebigambo bya Faaza Kisomose ebyasembyeyo

Added 5th May 2015

POLIISI ezudde akapapula Fr. Faustinus Kisomose ke yasembyeyo okuwandiika n’akassaako n’ennamba y’essimu ey’omuntu gwe yagambye nti aludde ng’amutadde ku bunkenke.

 Bya ERIA LUYIMBAZI NE SHAMIM NABUNNYA

POLIISI ezudde akapapula Fr. Faustinus Kisomose ke yasembyeyo okuwandiika n’akassaako n’ennamba y’essimu ey’omuntu gwe yagambye nti aludde ng’amutadde ku bunkenke.

Omulambo gwa Fr. Kisomose gwasangiddwa okuliraana eddwaaliro lya Mirembe Medical Centre e Najjanankumbi okumpi ne Nyondo Pub. Baakutte omukuumi w’eddwaaliro, Gerald Mutatiina era yakunyiziddwa poliisi y’e Katwe wabula n’ategeeza nti talina kakwate konna ku kufa kwa Fr. Kisomose.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, yagambye nti akapapula ke bazudde, Faaza yakakwasa omu ku bantu be yasisinkana mu kiro ky’Olwokuna mwe yafiira.

Nti Faaza yakawandiikako ennamba y’essimu n’addira ebintu bye yasiba mu kaveera n’abikwasa omuvubuka omu (amannya galekeddwa) n’amutegeeza nti, “Ojja kukubira omuntu oyo essimu omugambe akime ebintu ebyo era omutegeeze nti by’abadde ansaba binnemeredde, nsobodde kufunako ebyo.”

Enanga yagambye nti Poliisi erondoola nnyini ssimu Faaza gye yalese awandiise ku kapapula era bakyekenneenya n’ebintu bye yalese asibye mu kaveera bazuule akakwate ke birina n’omuntu nannyini ssimu eyawandiikiddwa ku kapapula akakozesebwa ng’obujulizi.

Enanga yagambye nti Faaza yatuuka mu bifo bisatu eby’enjawulo ng’atandikira ku bbaala y’e Zzana eyitibwa Big Ways.

Poliisi ezudde nti Faaza Kisomose, eyaziikiddwa ku kigo ky’e Lweza ku Lwomukaaga, yatambulira ku bodaboda okuva e Zzana ng’adda e Najjanankumbi. Poliisi era enoonya n’owa bodaboda eyatambuza Faaza ekiro ekyo.

Enanga yagambye nti kyandiba nga Fr. Kisomose yattibwa abazigu abamulumba nga balowooza nti alina ssente, omuntu agambibwa nti yali aludde ng’amwewerera okumutta, kyokka era balinze ne lipoota y’omusawo esembayo kuba ayinza okuba nga yafa mu nfa eya bulijjo.

Poliisi ezudde akapapula okuli ebigambo bya Faaza Kisomose ebyasembyeyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...