
Bya MUKASA KIVUMBI
POLIISI ezinze olumbe n’eyoola abakungubazi abaakoze effujjo ne bazinda amaka g’omutuuze ne bakoona ennyumba, okwonoona ebintu by’awaka ne basaawa ebitooke n’emmwaanyi nga bamuteebereza okubeera omulogo.
Abakungubazi beekung’aanyizza ku Lwokusatu ne balumba amaka ga Steven Njojo amanyiddwa nga Siiti ng’akola mu dduuka eritunda eddagala e Lugazi nga bamulumiriza nti yabadde alina ky’amanyi ku nfa y’omuvubuka Majidu Galumbwe, 25, eyatomeddwa mmotoka n’afa.
Abatuuze okutuuka okutwalira amateeka mu ngalo baabadde balumiriza Njojo nti yafunidde Galumbwe omulimu ku faamu ng’ayagala kumusaddaakira majiini kubanga yakozeeyo ennaku ntono, emmotoka y’ekitongole ekinoonyereza ku byobulimi n’obulunzi ekya NARO (UAR 428Y Toyota Land Cruiser) n’emutomera n’afiirawo.
Bino byabadde Kakubansiri e Kawolo mu disitulikiti y’e Buikwe. Abaayonoonye amaka ga Njojo yabatebuse ne basanga ng’amaze okuddusaawo abantu be. Bwe baamaze okusaanyaawo ennyumba n’ebintu by’awaka ebirala ne baddayo mu lumbe ne poliisi okuva e Lugazi we yabazindidde n’eyoolako abasoba mu 10.
Njojo yagambye nti Galumbwe abadde mutabani wa muliraanwa we Ali Odiriba. Omwana nti yava mu Arua gye buvuddeko era kitaawe Ali n’atuukirira Njojo n’amusaba okufunira omwana Galumbwe obulimu bw’abadde asobola okufunamu akasente akamuzza ku ssomero kye yava amutwala ku ffaamu gy’abadde yaakakolera ennaku nnya zokka.
Yagambye nti yeewuunyizza abatuuze okumukolako obulumbaganyi ate ng’omwana yafiiridde mu kabenje Njojo k’atalinaako kakwate.
Poliisi y’e Lugazi yaweze okutwala mu kkooti abo bonna abaatwalidde amateeka mu ngalo babeere ekyokulabirako eri abo bonna abatuusa obulabe ku balala nga tebayise mu nkola z’amateeka entuufu.
Poliisi eyodde 10 mu lumbe