TOP

Laddu erumizza abayizi 30 e Iganga

Added 22nd June 2015

LADDU egudde wakati mu nnamutikwa w’enkuba n’erumya abayizi b’essomero mu disitulikiti y’e Iganga.

Bya Tonny Tumbya

LADDU egudde wakati mu nnamutikwa w’enkuba n’erumya abayizi b’essomero mu disitulikiti y’e Iganga.

Abayizi 30 ab’essomero lya St. Mathias Mawagala SS e Nawaningi baatwaliddwa mu ddwaaliro ly’e Nakavule e Iganga ku Lwokuna wabula we bwazibidde eggulo ng’abasinga basiibuddwa okuva mu ddwaaliro oluvannyuma lw’okuweebwa obujjanjabi.

Enkuba eno yabasanze mu ssaawa z’amalya g’ebyemisana ng’abamu baabadde bagyeggamye ku lubalaza lw’ebibiina.

Emmotoka ya kabangali eya RDC w’e Iganga, Ramathan Walugembe, yayambyeko okusomba abamu ku baalumiziddwa ne batwalibwa mu ddwaaliro wabula abalala baabasombedde ku bodaboda.

Akulira essomero lino, Esinweri Bazibu, yategeezezza nti essomero teririna buuma bukwata laddu.

Yagambye nti yalinze enkuba n’okubwatuka ne bikendeera olwo n’akubira RDC Walugembe essimu, eyaweerezza emmotoka okuyambako okutwala abayizi okwabadde; Shadiya Namuganza, Sarah Kisakye, Hajira Babirye, Elizabeth Kawuma, Umar Waiswa, Josephine Kibadde, Julius Mugabo n’abalala ng’abamu baabadde tebamanyi biri ku nsi.

Abamu baateereddwaako eccupa z’amazzi ate abalala ne balabibwa nga baweebwa caayi ayokya n’okubikkibwa emikeeka empewo ebaggweemu.

 

Bazibu yategeezeza Bukedde nti ku ssomero tekuli buuma bukwata Laddu singa eba ekubye.
Yayongeddeko nti abasinze okukosebwa kwabadde Shadiya Namuganza, Sarah Kisakye, Hajira Babirye, Elizabeth Kawuma, Umar Waiswa, Josephine Kibadde, Julius Mugabo n’abalala bangi.
Bukedde weviiridde mu ddwaliro nga abasawo bakola ku bayizi bano era abamu ababadde ku bitanda balabiddwa nga babikiddwa emikeeka okubugumya emibiri gyaabwe.

Laddu erumizza abayizi 30 e Iganga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...