TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaayiira omusuubuzi Namanda asidi omulamuzi abasalidde emyaka 25

Abaayiira omusuubuzi Namanda asidi omulamuzi abasalidde emyaka 25

Added 24th June 2015

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Nakawa akalize abasajja babiri ekibonerezo kya kusibwa emyaka 25 buli omu oluvannyuma lw’okukkiriza nti baapangisibwa ne bayiira omusuubuzi Josephine Namanda aside eyamuviirako okufa.

Bya Meddie Musisi ne Edward Luyimbaazi


Omulamuzi wa kkooti enkulu e Nakawa akalize abasajja babiri ekibonerezo kya kusibwa emyaka 25 buli omu oluvannyuma lw’okukkiriza nti baapangisibwa ne bayiira omusuubuzi Josephine Namanda aside eyamuviirako okufa.

Faluku Walusimbi ne Ivan Namanya, omulamuzi wa kkooti enkulu e Nakawa Elizabeth Nahamya Ibanda ye yabakalize emyaka gino n’agamba nti babeere ekyokulabirako eri abagufudde omuze okuyiira bannaabwe asidi.

Bba wa Namanda, Kassim Kakaire, Walusimbi ne Namanya babadde bavunaanibwa okwekobaana ne bayiira omugenzi Josephine Namanda asidi nga November 16 omwaka ogwaggwa ku luguudo lwa Northern by pass bwe baali bava e Jinja okutuuma omwana waabwe erinnya.

Boonsatule babadde bavunaanibwa emisango ebiri okuli ogw’okutemula Namanda wamu n’okugezaako okutta omwana Sulaiman Namenya eyali ne bazadde be mu mmotoka.

Engeri Omulamuzi gye yasengeseemu ensala ye

Engeri Omulamuzi gye yasengeseemu ensala ye
Ku musango gw’obutemu, abasibye emyaka 25 kyokka nga ku gino kulina okugyibwako emyezi mukaaga gye bamaze ku limanda e Luzira.

Ku musango ogwokubiri ogw’okugezaako okutta omuntu, abasibye emyaka 20 buli omu era nga nakwo kulina okugyibwako emyezi omukaaga gye bamaze e Luzira.
Kyokka ebibonerezo bino byakutambulira wamu nga kino kitegeeza nti bombi bajja kusibwa emyaka 25 n’emyezi mukaaga.

 

Namanda bwe yali afaanana nga tannayiirwa asidi (mu katono).

 

Omulamuzi okukaliga bano bombi ku kibonerezo kino, baasoose kukkiriza emisango gyombi gye babadde bawerennemba nagyo era nga babuulidde kkooti engeri gye,baalukamu olukwe lw’okuyiira Namanda asidi nga baagulibwa bba Kakaire ku bukadde bubiri.

Nsiime yalaze kkooti ebbaluwa eyawandiikiddwa Walusimbi nga takakiddwa nga yeetondera abooluganda lwa Namanda n’eggwanga lyonna olw’ettemu lino lye baakola.

Omulamuzi Nahamya yawadde omukisa ab’oluganda lwa Namanda okwabadde omwanawe omukulu Carlorine Nassiwa ne muganda w’omugenzi Rose Nankabirwa okubaako kye basaba kkooti nga tannawa nsala ye.

Nassiwa yakwasiza kkooti ennaku bwe yategeezezza nti takkirizigannya na kya kusiba bantu bano myaka kkumi gyokka nti kubanga baatuusa eddibu ddene nnyo ku famire yaabwe era bazza obulamu bwabwe emabega bwe babaggyirawo omuntu eyali abayamba.

“Ow’ekitiibwa omulamuzi maama waffe ye yali buli kimu eri obulamu bwaffe, mu kiseera kino tusubwa ebintu bingi era n’okusoma kwaffe kwatataaganyizibwa, abantu abo, n’olwekyo nsaba baweebwe ekibonerezo kya kuttibwa nga bwe baakituusa ku maama waffe,” Nassiwa bwe yasabye Omulamuzi.

Kakaire teyaleeteddwa mu kkooti kuweebwa kibonerezo kubanga ye akyegaana omusango guno.

 

 

Abaayiira omusuubuzi Namanda asidi omulamuzi abasalidde emyaka 25

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...

Ggoolokipa Lukwago agudde m...

GGOOLOKIPA wa KCCA FC ne Uganda Cranes, Charles Lukwago agudde mu bintu bw’afunye kkampuni egenda okumwambazanga...

Mabirizi addukidde mu kkoot...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu mu musango gw'avunaana Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo n'agisaba...

Abatuuze batabukidde omuser...

Abatuuze ku byalo bina okuli; Kigando, Kirumba, Sozi ne Bukaana mu ggombolola y'e Mijwala e Sembabule bali mu kutya...

Fr. Tamale aziikiddwa wakat...

AKASEERA kakwennyamira mu bannaddiini n'abakungubazi abeetabye mu kitambiro kya mmisa ekulembedde omukolo gw'okuziika...