TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde avungisa ssente ku paaka ba mukubye amasasi agamuttiddewo

Abadde avungisa ssente ku paaka ba mukubye amasasi agamuttiddewo

Added 2nd July 2015

ABAZIGU bakubye abantu abalala basatu amasasi e Nakwero ku lw’e Gayaza ne gattirawo omu abalala ne batwalibwa mu ddwaaliro nga bali bubi.

Bya SAMUEL TEBUSEEKE  NE MADINAH NALWANGA


ABAZIGU bakubye abantu abalala basatu amasasi e Nakwero ku lw’e Gayaza ne gattirawo omu abalala ne batwalibwa mu ddwaaliro nga bali bubi.

Bano baabakubiddwa nga waakayita eddakiika ntono nga ne Sheikh Hassan Kirya yaakakubwa amasasi agaamuttidde mu tawuni y’e Bweyogerere mu kiro ky’Olwokubiri.

Omusuubuzi George Mayombwe abadde akolera ku Paaka Enkadde, amasasi gaamukutte ku mutwe era n’afiirawo. Abadde akola gwa kuwaanyisa ssente era nnamwandu Joy Ntabadde nga n’amaziga gamuyitamu yategeezezza Bukedde nti babadde baakamala okukola emikolo gy’okwanjula nga bategeka mbaga yaabwe mu August w’omwaka guno. Baamusse anaatera okutuuka mu maka ge e Nakwero.

Ettemu lyabaddewo ekiro ku ssaawa 5:00 ku Lwokubiri era abalala abaakubiddwa amasasi kuliko Allan Muwonge, 24, ne Deo Ssali. Bano olwakubiddwa, poliisi yabadde tennaba kutuuka, abantu ne beekolamu omulimu ne babatwala mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujjanjabi era kati bagenda batereera.

Muwonge agamba nti zaabadde essaawa 3:00 ez’ekiro, ng’ava ku Kaleerwe ali ku bodaboda, n’agwa mu batemu abaabadde baliko gwe bakuba amasasi, olwawulidde ekibwatuka, kwe kubamulisaamu ettaala nabo ne bamukuba amasasi.

Omu ne limukwata ku mukono, ate omulala ne limukuba mu lubuto ne ku mikono.
Omugenzi babadde  baakamwegezaamu  emirundi 3

Ssali abadde akola ne Mayombwe era baabadde batambulidde ku bodaboda emu nga bava ku mulimu okudda eka kubanga bombi babadde basula mu kitundu kimu.

Deborah Nakabugo, ng’ono yomu ku booluganda lwa Ssali, ategeezezza nti Mayombwe aludde nga yeekengera abantu ababadde beegeza mu kumutta era kyamutuusa okusalawo okutambuliranga ku bodaboda emu ne mukwano gwe Ssali okwetangira abatemu ababadde baakamwegezaamu enfunda ssatu kyokka ku gw’okuna ne bamuteega ne bamutta.

Ssali yafunye ebisago bingi.
Poliisi y’e Kasangati yatuuse mu kifo awaabadde ettemu n’erondawo ebisosonkole by’amasasi bibiri (2) ate omulambo gwa Mayombwe ne bagutwala mu ggwanika.

EL-Maftzi Tai Ramandhan, ng’ono y’akola ng’atwala poliisi y’e Kira mu kiseera kino, yategeezezza nti kiteeberezebwa ng’abasse Mayombwe baamuteeze nga bamanyi nti alina ssente era bye baakakuhhaanya biraga nti baatutte ssente ezisukka obukadde busatu omugenzi ze yabadde nazo.

 

Abadde avungisa ssente ku paaka ba mukubye amasasi agamuttiddewo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Anite ku ddyo ng'atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono

Eyatemudde mukwano ggwe n'a...

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganziwe mu bizinga by’e Kalangala....

Balooya ba Kyagulanyi, George Musisi (ku kkono) ne Fredrick Robert, muganda wa Kyagulanyi, Fred Sentamu Nyanzi (wakati), omuwandiisi wa NUP, Gen. David Lewis Rubongoya, n;omwogezi wa NUP, Jowel Senyonyi (ku ddyo).

Poliisi by'esazeewo ku kuva...

POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso. Omwogezi...

Pulezidenti Museveni lwe yatongoza ekkolero lya METUZHONG erikola bbaasi e Namanve nga March 9, 2019.

Gavumenti by'egenda okukola...

OKUTANDIKA okukolera wano ebintu ebibadde bisuubulwa ebweru w’eggwanga n’okwongera ku bungi bw’ebintu ebitundibwa...

Fred Enanga.

Poliisi eyigga omuwala eyag...

POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw’erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w’e...

Isreal

Boogedde bye balabye mu mya...

Micheal Orahi Osinde, omwogezi w’omukago ogutaba ebibiina byobufuzi byonna mu ggwanga ogwassibwawo mu 2010 agamba...