TOP

Mary Bata bamukutte ku katambi n'omusajja

Added 11th July 2015

AKATAMBI ka Desire Luzinda n’Omunigeria Franklin Emuobor Ebenhron bwe kaasaasaanyizibwa mu November wa 2014, Bannayuganda ne bawuniikirira.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA


AKATAMBI ka Desire Luzinda n’Omunigeria Franklin Emuobor Ebenhron bwe kaasaasaanyizibwa mu November wa 2014, Bannayuganda ne bawuniikirira.

Akabadde kakyasembyeyo ka mwana muwala Fabiola, ate n’ak’omuyimbi wa ‘Saluti’ Mary Bata we kajjidde...Naye abaffe, ensi yattu eri ku ki? Nze naawe.

Munnayuganda nkubakyeyo e South Afrika yasigudde omuyimbi Mary Bata ku Charles Kalangwa, ne babakwata n’akatambi nga bali mu mukwano ne bakasaasaanya.

Okukwata akatambi kano, Mary Bata yasoose kutabuka na Kalangwa n’ava n’e Bweyogerere Kalangwa gye yamukolera saluuni ya ‘Bata Salon’ n’asengukira e Namasuba ku lw’e Ntebe.

Muganzi wa Mary Bata omupya ye ‘Chopper Chopper’ kyokka ng’amannya ge amatuufu ye Geofrey Kitaamirike, agambibwa okuba omusuubuzi w’emmotoka.

Mary Bata yalinnye ennyonyi nga June 14 n’agenda e Bungereza ne mukama we Haruna Mubiru, Gravity Omutujju ne Ambasada Ssali ne bakubira Bannayuganda omuziki mu kibuga London.

Banne baakomyewo kuno, wabula yayise buyisi n’agenda e South Afrika gye yasanze Kitaamirike ne babeera mu mukwano omuzibu ng’eno bwe babakwata ku katambi akaamaze ne kasaasaanyizibwa.

Mu katambi kano Mary Bata n’omulenzi we beeraga amapenzi nga bwe bazina amazina ag’engeri omuli ne ‘sikwizi’, gye biggweera nga bagudde mu ntebe ne beenywegera....

Kitaamirike eyalabikidde mu katambi ne Mary Bata

Omuyimbi ono yakomyewo ku Lwokusatu n’ategeeza nti, akatambi ako baakabakwata tebategedde kubanga ye ne muganzi we baali bava ku kabaga nga bacamuse era olwayingira ennyumba baagenda mu maaso n’okuzina amazina nga bwe baali bakola ku kabaga kyokka omu ku bantu abaali mu nju n’akaweerezaako mukwano gwe eyakasaasaanyizza. “Era naffe twakeekanze bwekanzi nga bakasaasaanyizza,” bwe yannyonnyodde.

Kigambibwa nti omuyimbi ono yasisinkana Kitaamirike omwaka oguwedde. 
Gye buvuddeko Kalangwa bwe yabuuziddwa ku mukwano gwabwe n’omuyimbi ono yategeezezza nti, bazze bafuna obutakkaanya nga bwe babugonjoola.

 

Kalangwa ng’akutte ku lubuto lwa Mary Bata bwe baali bakyali mu mukwano.

mukama wa mary bata ayogedde

Haji Haruna Mubiru, akulira Kream Production, Mary Bata mw’ayimbira agamba nti, akatambi ako tannakalabako kubanga ali mu kisiibo tayagala bintu biyinza kumusiibulula. Kyokka n’ategeeza nti, “bwe baba baakakutte, Mary Bata teyaswadde kubanga oyo muganzi we buli omu akimanyi era sirabawo buzibu”.

POLIISI EBIYINGIDDEMU

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza ku Lwokutaano ku makya nti, “akatambi ako twakawulidde ku Lwakuna ne tutandika okukanoonyerezaako. Tugenda kuyita Mary Bata atunnyonnyole eyakakwata, enkwata yaako n’ekigendererwa ky’okukasaasaanya.
 

Mary Bata bamukutte ku katambi n’omusajja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...