TOP

Abadde akukusiza enjaga mu lubuto akutuse

Added 15th July 2015

OMUSAJJA yamize obuweke bw’enjaga ebalirirwamu obukadde bw’ensimbi 100 ne bumusaanuukira mu lubuto n’afa. Banne omulambo baagusudde wabbali w’oluguudo ne badduka.

Bya JOSEPH Makumbi, Deborah  Nanfuka ne Prossie Kalule


OMUSAJJA yamize obuweke bw’enjaga ebalirirwamu obukadde bw’ensimbi 100 ne bumusaanuukira mu lubuto n’afa. Banne omulambo baagusudde wabbali w’oluguudo ne badduka.

Omusajja ono atemera mu myaka nga 50 egy’obukulu, omulambo gwe gwasuuliddwa Kiwawu ku lw’e Mityana ku ssaawa nga ttaano ez’oku makya ku Mmande.

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti abatuuze abaliraanye Kiwawu baalambye mmotoka bbiri ez’abuyonjo nga bwe zaatuuse mu kifo ekyo ne baggyamu omulambo gw’omusajja ono atannategeerekeka mannya ne bagusuula wabbali ne babulawo.

Kiteeberezebwa nti omusajja ono yabadde amize obuweke buno ng’agenda kulinnya nnyonyi okugenda mu ggwanga erimu okutundayo enjaga eno kyokka ebyembi n’eyabikira mu lubuto n’emutta nga tannaba kulinnya nnyonyi.

Banne be yabadde nabo baamuggyeko buli kimwogerako okukweka obujulizi bwonna era we bwazibidde nga poliisi egenda mu maaso n’okunoonya ebimukwatako.

Dr. Moses Byaruhanga, omusawo wa poliisi eyalongoosezza omulambo guno, yannyonnyodde nti omugenzi alabika ng’enjaga yabadde yaakagimira ebbanga ttono emabega okutuuka we yafiiridde era nga yabadde emaze okuyingira mu musaayi ekyavuddeko okufa.

Yagasseeko nti mu bbanga lya myaka 15, baakafuna abantu musanvu abamize enjaga n’ebatta nga bagezaako okugikukusa okugitwala ebweru w’eggwanga. Poliisi yagguddewo fayiro nnamba CRB 1656/2015 okunoonyereza ku nfa y’omusajja ono ng’omulambo gwe we bwazibidde eggulo nga gukyakuumirwa mu ggwanika e Mulago.

 

Abadde akukusiza enjaga mu lubuto akutuse

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...