TOP

Abatuuze basse omuyizi

Added 24th July 2015

ABAZADDE baamutumye omugaati ku dduuka baakanze kumulinda nga takomawo ekyabawalirizza okutandika okumunoonya nga tebamulaba kyokka enkeera baasanze mulambo.

Bya VALLY MUGWANYA NE ANTHONY SSEMPEREZA

ABAZADDE baamutumye omugaati ku dduuka baakanze kumulinda nga takomawo ekyabawalirizza okutandika okumunoonya nga tebamulaba kyokka enkeera baasanze mulambo.

Omwana Lawrence Bazannyanengo abadde muyizi wa S1 ku Lubiri SS olwavudde ku ssomero n’atuuka awaka ewa kitaawe Lawrence Ssenabulya e Lungujja Kitunzi n’akola ku mirimu gy’awaka bwabadde buwungeera kitaawe n’amutuma omugaati ku dduuka.

Eyanonye omugaati banywe caayi akawungeezi bazzizzaako maziga nga bamusse mu bukambwe.

Olwaguze omugaati ne bamuguteekera mu kaveera yabadde addayo eka kwekusanga munne bwebasoma nga ye lw’avaayo ku ssomero ne batandika okwegoba nga bazannya ng’abaana bwe batera okubeera.

Baabadde beegoba kwekusanga omukyala eyabadde ayogera ku ssimu ne bamukoona nga bazannya essimu n’egwa.

Wakati mu kutya omwana yakutamye okugirondawo agimuddize kyokka omukyala yakubye nduulu nti abaana baabadde bamubbako essimu olwo n’abo ne bafubutuka badduke.

Bazannyanengo munne gweyabadde naye yadduse ono ne bamukwata ne bamukuba okutuusa kwe baamusse kyokka abamu baagenze okumwetegereza nga mwana wa mutuuze gwe basse olwo ne bagezaako okubuzaabuza obujulizi omulambo ne bagusuula mu mufulejje abantu gye baagusanze enkeera.

Bino byabaddewo ku Mande akawungeezi omulambo ne baguzuula ku Lwokubiri era n’omukazi eyavuddeko obuzibu poliisi yamukutte n’aggalirwa e Kampalamukadde.

Awaka wa Ssenabulya

TAATA W'OMWANA EYAFUDDE ANNYONNYOLA:
Ssennabulya agamba nti omwana abadde alunda embuzi era olwakomyewo awaka n’amala okuziwa ebyokulya kwekumutuma ku dduuka.

Nalinze omwana okuva ku saawa nga bbiri akawungeezi nga takomawo ne ndowooza nti yabadde aluddeyo bulwi ne nnyongera okuguma.

Bwennalabye obudde bweyongedde ne nnyongera okweraliikirira oluvannyuma ne tutandika okumunoonya.

Enkeera ensonga nazitutte ku poliisi ne nkola sitetimenti olwagimaze ne wabeerawo Omupoliisi eyagambye nti waliwo emirambo ebiri gye baabadde baggye ku kkubo nga bukya ku Lwokubiri ne bagitwala e Mulago.

Nasitukiddemu okutuuka e Mulago, omwana wange gwennatumye omugaati nasanze mulambo mu ggwanika. Twamuziise e Mpenja mu Gomba kyokka nasigadde newuunya ekyattisizza omwana wange.

AKULIRA POLIISI Y’E LUNGUJJA ANNYONNYODDE:
Robert Omara agamba nti zaabadde ziwera saawa nga satu ekiro ne bafuna essimu eyabategeezezza nti waliwo omwana gwe baabdde bakuka ne basitukiramu okugend aokulaba ogubadde baagenze okutuukawo ng’omwana amaze okufa.

Twagenze mu maaso n’okubuuliriza ne tuzuula embeera eyaviiriddeko okuttibwa kwa Bazannyanengo okuva ku bantu abaabaddewo ne tukizuula nti omwana baabadde bamusse ng’ali ne banne.

OMUKULU W’E SOMERO LYA LUBIRI SS KYAGAMBA:
Godfrey Ssentongo yategeezezza nti omwana yabadde yavuddeyo dda ku ssomero ng’ali mu mikono gy’abazaddebe. Tusaaliddwa nti omuyizi waffe afudde mu ngeri embi bwetyo, tumukungubagidde era twasindise ne banne mu kuziika.

Abatuuze basse omuyizi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.