TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eraze ebisinga okuvaako okutemula abakazi

Poliisi eraze ebisinga okuvaako okutemula abakazi

Added 15th August 2015

OKUTEMULA abakazi n’abawala kukyatakuza bambega ba poliisi emitwe, kyokka bazudde obuzibu we businze okuva.

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA


OKUTEMULA abakazi n’abawala kukyatakuza bambega ba poliisi emitwe, kyokka bazudde obuzibu we businze okuva.

ENJAGA NE ZZAALA

Enjaga n’ebibinja by’abavubuka abakeera mu ‘beetingi’, amatatu ne ludo bye basinze okusongwako; kubanga tebalina mirimu givaamu ssente ate nga bazeetaaga nnyo!

Omulabirizi w’e Namirembe bwe yabadde mu kukungubagira Omutaka Nelson Ssebuggwaawo yagambye nti kumpi buli awali ekisiko, obudde bwe buziba owulira wafubutukayo enjaga efuweetebwa era abavubuka bwe bamala okuginywa nga bateega abakazi okubasobyako n’okunyaga.

Gerald Mayanja taata wa Jose Chameleone mu kuziika mutabani we AK 47 naye yeekokkola enjaga n’asaba gavumenti esanyeewo emisiri gyonna kubanaga abamala okuginywa be bakola ffujjo, obutemu, okusobya ku bakazi n’obubbi.

Bambega ba poliisi bateebereza nti abasinze okwenyigira mu kukuba obutayimbwa, okukwata obubadiya n’enziba empya ey’ababbi abazinda ekitundu nga bali mu gubinja ogunene (eyitibwa Ekigaali); bonna basooka kunywa njaga.

OKUNAFUWA KWA LCI

Bino bisanze n’obukulembeze bwa LC I obwalondoolanga abamenyi b’amateeka bunafuye nnyo oluvannyuma lw’okumala emyaka 14 nga teri kulonda nga n’abaali balondeddwa abamu baafa, okukkakkana ng’ababbi n’abamenyi b’amateeka bawambye obukulembeze bwa Zooni ezimu.

Waliwo Bassentebe ba LC I mu Makindye ne mu muluka gw’e Kasubi abaludde nga beemulugunyizibwako nti bakolagana butereevu n’ebibinja by’ababbi, kyokka poliisi tekoze kimala kubalondoola n’okubakwata.

ABEEYITA BA “CRIME PREVENTER”

Poliisi erina abantu b’etendeka okuyambako mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka, kyokka ng’abamu babbi.
Wiiki ewedde, poliisi ya Kira Road yawaliriziddwa okutuuza olukiiko n’abakulembeze ba Zooni mu Nakawa n’ebassa ku nninga olw’okusemba abavubuka be bamanyidde ddala nti babbi mu bitundu, wabula ne babawa amabaluwa agabanjula ku poliisi nti bayingizibwe mu kibinja kya ba “Crime Preventer”.

Mu bubbi n’obumenyi bw’amateeka obwabadde e Ntinda, Lubowa, Ndejje, Kitende ne Kajjansi mwe baakwatidde abapoliisi bana n’emmundu 4, baakizudde nti ddiiru zonna zibadde zirukibwa abavubuka abaatandika okukolagana ne poliisi y’e Kajjansi mu kiti kya “Crime Preventer”.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga yategeezezza Bukedde nti okunoonyereza kwa bambega ba poliisi kulaze nti abatta abakazi n’okubasobyako, abamu baba baganzi baabwe; n’anokolayo Matthew Kirabo eyakwatiddwa ku by’okutta omuwala wa yunivasite y’e Makerere, Desire Mirembe eyasangiddwa nga yasaliddwa obulago omulambo ne gusuulibwa e Lugazi.

Kyokka yagasseeko nti abalala bagwa mu bibinja by’abamenyi b’amateeka abateegera mu bufo obwekusifu obubeeramu enzikiza, ensiko n’ebiyumba ebitakyakozesebwa.
Abamu ku basinga okuttibwa be bayizi naddala aba yunivasite be batera okuteega nga bava mu kusoma kw’ekiro nga badda ku bisulo.

Enanga yagambye nti enkyukakyuka ezikolebwa mu poliisi zonna zigenderera kunogera kizibu kino ddagala era omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano omuggya Benjamin Namanya, bwe yabadde akwasibwa ofiisi baamukalaatidde okulwanyisa ettemu n’obumenyi bw’amateeka obulala mu Kampala, Wakiso, Mukono n’emiriraano.

ABAKULEMBEZE BANNYONNYODDE:

Wakayima Nsereko Musoke Ssentebe w’e Nansana: Ettemu mu Nansana likutte wansi ne waggulu ate nga teriri ku bakazi bokka, era abatta abantu mu kitundu batusobedde. Basse omukuumi ku JOJO e Nansana oyo baamufumise biso, basse Kasozi abadde avuga bodaboda ne pikipiki bagitutwala.

Ebibinja by’abavubuka bingi mu kitundu abatalina mirimu kyokka nga beegomba ebirungi! Gavumenti etukoze bubi kubanga nayo etendeka abantu naddala abavubuka nti bagenda kukuuma byalo ate ne batabalondoola. Bw’otunuulira abavudde e Iraq baabatendeka eby’ekisirikale naye bwe bakomawo wano tebalondoolwa.

Muyanja Ssennyonga meeya wa Mukono: Ettemu lyali lisitudde enkundi mu kitundu kyaffe abantu ne batandika enkola nga gwe bakwata bamwekolerako. Wadde enkola eyo tetugiwagira, naye abamenyi b’amateeka yabatiisa. Abavubuka bangi nnyo abatalina kye bakola ate nga balina bye beegomba ekiyinza okubawaliriza okukwatagana n’emikwano emikyamu ne bateega abantu.

Musa Zzimbe sentebe w’omuluka gwa Nakulabye: Abantu ab’emitima emibi bangi era abamu abatta abakazi weesanga nga muganzi we oba mwamiwe ayinza okubeera nga yamuteeberezza kubeera omwenzi n’alowooza nti amutte bonna bamufiirwe.
Pamela Ankunda omwogezi wa minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga: Tufuba okulaba nti poliisi eyongeza ku kulawuna n’okulwanyisa ebikolwa ebikyamu.

 

Poliisi eraze ebisinga okuvaako okutemula abakazi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tumukunde mu lukungaana.

Be baagoba ku ttaka ly'ebib...

MAJ. Gen. Henry Tumukunde asuubizza okuliyirira abantu bonna abaagobwa ku ttaka lye bibira n'okukyusa ebyenjigiriza...

Amuriat ng'ali e Terego.

Poliisi etaasizza Amuriat o...

PATRICK Oboi Amuriat, akwatidde FDC bendera mu kuvuganya ku Bwapulezidenti, amaze essaawa nnamba ng'asobeddwa oluvannyuma...

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...