TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyawambibwa ku myaka 6 mu 1983 amazeeko abooluganda emirembe

Eyawambibwa ku myaka 6 mu 1983 amazeeko abooluganda emirembe

Added 11th September 2015

Dr. Viateur Rutaganda, ow’e Nansana buli lw’atambula n’alaba omukazi omweru ng’amaguka. Abeera alowooza nti, yandibeera mwannyina eyawambibwa mu lutalo nga wa myaka mukaaga era nga kati kitutte emyaka 32.

Bya KIZITO MUSOKE

Dr. Viateur Rutaganda, ow’e Nansana buli lw’atambula n’alaba omukazi omweru ng’amaguka. Abeera alowooza nti, yandibeera mwannyina eyawambibwa mu lutalo nga wa myaka mukaaga era nga kati kitutte emyaka 32.

Buli kiro awawamuka ng’alaba azzeemu okulaba ku mwannyina, ate nga n’emisana atambula alaba ekifaananyi kye mu birowoozo kyatasobola kwozaamu. Ebirowoozo bimugamba nti wadde tamuwuliza naye akyali mulamu era luliba olwo ne baddamu okusisinkana.

Olutalo lw’okunoonya mwannyina, lumutuusizza ku omu ku bajaasi abaamuwamba naye n’ateebwa mu ngeri etategeerekeka. 

“Twali tubeera ku kyalo Kikolombo e Kyankwanzi ne bazadde baffe  abagenzi okuli, Laurent Segatarama ne Immaculate Mukabandora.

 Olutalo mu 1980 bwe lwannyinnyittira ne tusenga mu nkambi y’amagye e Nakaseke. Gavumenti ya Obote yatuggyayo ne batutwala mu nkambi e Kiboga.

 Mwannyinaze Scola Ssanyu yasigala mu nkambi ye Nakaseke nga tusenguka. Tuba tulinnya loole okusenguka mu 1983, abasirikale okwali Lt. John Matege ne St. Fred Masete ne bakwata Ssanyu ne bamusigaza.  Taata yagezaako okukaayana   kyokka ne bamulabula kuba yalina n’omukisa okuba nga yali akyali mulamu. Olutalo lugenda okuggwa nga tuli Lyantonde.

Bazadde bange baagezaako okunoonya buli wamu ne babulwa, okutuusa lwe baafa. Ebirowooza n’ebirooto byatandika okunzijira buli kaseera nga bihhamba okunoonya mwannyinaze gye yabulira.

NTANDIKA OMUYIGGO

Naddayo e Nakaseke awaali enkambi. Nasanga abataka bakyaliyo. Bankakasa nti Ssanyu yasigala ne L.t Matege ne Fred Masete. 

Bannyamba nnyo okumbuulira gye nsobola okufunamu abasajja bano. Natandika omuyiggo era bantegeeza nti, Lt. Matege yali akyali mu magye, ate Masete ye yddayo ewaabwe e Mbale. Nazuula nga Matege yafa, kyokka ye Masete mulamu eng’akolera mu ddwaliro erimu e Mbale. Nafuna essimu ye ne mmubuuza ku by’omuwala Ssanyu yatandikirawo okuntiisatiisa.


MASETE AKWATIBWA

Nagenda ku poliisi n’akwatibwa era n’atwalibwa e Kyankwanzi n’aggulwako omusango gw’okubuza omuntu ku fayiro nnamba CRB79/2015. 

 Masete yasooka kwegaana oluvannyuma n’akkiriza nti, yakolerako mu bitundu by’e Nakaseke ne  Kyankwanzi kyokka naye  eby’okuwamba Ssanyu tabimanyi.

 Yateebwa nga August 21, ku kakalu ka kkooti, okuva mu kkooti Enkulu e Kiboga nga sitegeezeddwa.   Nkakasa nga Masete alina ky’amanyi, ku kubula kwa Ssanyu era mu kiseera kino ndi mu kutya nti, Ssanyu bw’aba omulamu ayinza okumulondoola n’amutta okubuza obujulizi.

Mu kunoonyereza nafunye ekifaananyi ky’omugenzi Matege ng’ali n‘omuwala ne mbuuza abooluganda lwa Matege ku bifa ku muwala ono nga tebamumanyi.

Ssanyu mu kiseera kino alina okuba ng’aweza emyaka 38, era ng’ayinza okuba mu bitundu bya Buganda, Busoga oba Bugisu.  Bw’aba yafa, waakiri nkitegeere mmanye ne we yaziikibwa muggyeyo muziike ku kiggya kyaffe mu kitiibwa.

Alina ky’amanyi ku Ssanyu ayinza okugenda ku poliisi oba okukuba ku nnamba za Bukedde ezibeera ku mawulire oba ku 0755187373. Munnyambe, sikyalina mirembe.

Eyawambibwa ku myaka 6 mu 1983 abazeeko abooluganda emirembe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...