TOP
  • Home
  • Busoga
  • Omukazi eyafiiridde mu kabenje e Kaliisizo yalimbye bba bw'agenda e Jinja

Omukazi eyafiiridde mu kabenje e Kaliisizo yalimbye bba bw'agenda e Jinja

Added 1st January 2016

RITAH Nabbosa yasiibudde bba nti agenze mu lukiiko lw’okumanyagana, Kyokka kyamwewuunyisizza okuwulira nti mukyala we y’omu ku baafiiridde mu kabenje e Rakai!

 Mutumba n'omugenzi Nabbosa

Mutumba n'omugenzi Nabbosa

Bya JOHNBOSCO MULYOWA

RITAH Nabbosa omu ku baafiiridde mu kabenje e Kaliisizo ku luguudo lw’e Kyotera omwafiiridde abantu abasatu yabadde asiibudde bba okuva e Kampala ng’amugambye nti agenda waabwe e Jinja mu Busoga mu lukiiko lw’okumanyagana.

Kyokka kyamwewuunyisizza okuwulira nti mukyala we y’omu ku baafiiridde mu kabenje e Rakai!

Bino bakira bye bigaambo ebyogerwa abooluganda lwa Nabbosa okwabadde ne bba bwe baabadde baweebwa omulambo gw’omuntu waabwe okuva mu ggwanika ly’eddwaaliro lya Gavumenti e Kaliisizo mu Rakai gye baatwaliddwa oluvannyuma lw’akabenje akaaggwaawo ku Lwokusatu akawungeezi.

Nabbosa abadde musuubuzi mu Kireka -Bbira LC 1 era y’omu ku baafiiriddewo mu kabenje ka takisi nnamba UAX 144 N n’etta abantu basatu.

Wabula w’osomera bino nga ne ddereeva w’emmotoka eno, Isma Mutumba naye yafiiridde mu ddwaaliro e Nsambya gye yatwaliddwa oluvannyuma lw’okufuna ebisago eby’amaanyi.

Awezezza omuwendio gw’abantu bana abaafiiridde mu kabenje kano.

Mutumba yagezezzaako okubuuka mu mmotoka kyokka n’emugwiira era abadduukirize baamaze kugisindika okumuggyawo wansi gye yabadde alaajanira.

N’omwana omuwala eyabadde tasoose kumanyika mannya nga ye Suzan Nambuusi 14, abantu be baatuuse nga baakulembeddwaamu kitaawe Godfrey Kafuuma ow’e Nakatoogo mu ggombolola ye Nabigasa ne bamutwala.

Abadde asomera wa ssenga we e Kampala gye yabadde ava okujja ewa kitaawe okujaguliza awamu omwaka omuggya! John Kasiita eyafiiridde ku kyalo kwennyini e Ninzi-Kaliisizo kwe yabadde ajja naye yaziikiddwa ku kyalo ekyo wakati mu miranga n’okwaziirana. Bbo abamu ku baalumiziddwa bakyali mu malwaliro ag’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...