
Moses Kakooza eyattiddwa
MUNNABYABUFUZI w’e Wakiso eyatutte nkubakyeyo okumuguza ettaka bamuzingizza ne bamutema ebiso ebimusse.
Moses Kakooza ow’e Kiwenda era abadde yeesimbyewo ku ku kaadi ya NRM nga kansala okukiikirira Kiwenda ku munisipaali y’e Nansana e Wakiso. Kakooza yaabadde ssentebe wa NRM ku LCII e Kiwenda.
Yabadde atutte omukyala nkubakyeyo okuva e London okumulaga ettaka lye yasasula naye ng’ayagala ekitundu kyennyini kye baamuguzizza.
Ettaka lino erya yiika ennya lisangibwa Nakaseeta Ziroobwe mu Luweero kyokka nga liriko enkaayana ezirudde nga Kakooza agezaako okuzigonjoola n’abasenze abaliriko basobole okugabana basale ku bibanja byabwe basobole okubawa ebyapa kyokka abamu nga bakyeremye.
Ku Lwokubiri Kakooza yabadde Kiwenda, ssentebe w’e Nakaseeta Jumah Mujala n’amukubira essimu ng’amutegeeza nti bagende basisinkane mu lukiiko basobole okwongera okugonjoola ensonga kubanga yabadde amaze okukunga abatuuze okulwetabamu.
Mu lukiiko luno n’omusenze Madi, agambibwa okutema Kakooza yalwetabyemu. Abudallah Sembugo Mukisa muganda w’omugenzi yategeezezza nti Kakooza kye yakoze kwe kukubira omukyala eyabadde amupeeka okumulaga ettaka lye ajje bagende bonna bw’atyo n’ayita ne Sembugo ne bagenda bonna.
Sembugo agamba nti baasimbudde ku ssaawa nga 11:00 olweggulo ne batuuka e Nakaseeta mu kifo we baalagaanye okusisinkana kyokka ne beekengera nga mu luggya waliwo amatoffaali agalinga ge bategese okukozesa okubalwanyisa.
“Twagakuhhaanyizza ne tugapanga ku mabbali g’oluggya ne tugatuulako oluvannyuma olukiiko ne lugenda mu maaso,” Sembugo bw’annyonnyola.
Ayongerako nti olukiiko lwagenze mu maaso ne luggwa bulungi nga bakkaanyizza ekibanja ekya yiika ennya bakigabane ne Madi atwaleko yiika bbiri ne Kakooza asigazeeko bbiri. Kyokka Madi yasoose kukaayana ng’ayagala ye atwale ssatu Kakooza asigaze emu. Eno si ye yabadde ensisinkano esooka.
Nnamwandu Shan Bayiga yagambye nti baasoose kusisinkana ku Ssande ne baawukana nga tebakkaanyizza Madi n’agamba nti ye mwavu tayinza kukaayana na mugagga wabula Kakooza nti bw’atamuwa yiika ssatu waakumuyingiza ettaka.
“Ennaku eziyise baze abadde tava waka ng’omusujja gumuluma naye yalabye ssentebe w’e Nakaseeta amukubira essimu buli kiseera kwe kusitukiramu agende abimalirize.”
Ettaka lino liriko ekyalo kiramba. Lyagulibwa Pasita Godfrey Sennyonjo ow’e Nansana n’akwasa Kakooza obuyinza agende ng’akkaanya n’abatuuze bagabane ebibanja kwe batudde babakolere ebyapa ate abalina obusobozi ne babalagira beegule era abawerako abadde amaze okukkaanya nabo naye nga Madi yeeremye.
BATEMA KAKOOZA EBIJAMBIYA
Olukiiko olwawedde ne batambula okugenda abaakulembedde ne balinnya emmotoka kyokka ne wabeerawo ayita Kakooza ne basigala emabega nga baliko bye bamaliriza.
Matiya abadde ayambako Kakooza okusisinkana abatuuze n’ajja ku mmotoka ng’adduka.
“Yantegeezezza nti Madi abadde amugoba ng’akutte ejjambiya kyokka alabika azingirzza Kakooza.” Sembugo annyonnyo la
Nabadde nzirayo ne bandabula nti sidda mabega nange bagenda kunzite ate nagenze okutuuka ku mmotoka ng’omukyala gwe twatutte okulaga ettaka asimbudde.
Nadduse nga mpita mu nsiko okutuusa lwe nnafunye bodaboda eyantuusizza ku poliisi e Ziroobwe. Twagenze okuddayo ku kyalo nga Kakooza alaajana n’atunyumiza ebyamutuuseeko kyokka nga bamutemyetemye omubiri gwonna ku mutwe, mu mugongo n’emikono avuddemu omusaayi mungi.
Twamuyoddeyodde okumuteeka mu ambyulensi eyamututte mu ddwaaliro lya JK e Kiwenda oluvannyuma ne tumutwala e Mulago gye yafiiriddde ekiro ku ssaawa 6:00.
OKUZIIKA KWABADDEMU OKUSIKA OMUGUWA
Okuziika Kakooza kwabaddemu enkaayana ng’ab’oku kyalo baagala aziikibwe e Kiwenda ate abooluganda baagala kumutwala Kikyusa mu Luweero. Nkubakyeyo olwamalirizza ebyabaddewo ye n’alinnya n’addayo. Omubaka Robert Ssebunnya akiikirira Kyaddondo South yasaasidde abantu okufiirwa munnbyabufuzi munnaabwe n’abagulira ssanduuke n’okutambuza omufu wamu n’obuyambi obulala mu lumbe.
KAKOOZA SI Y’ASOOSE OKUTTIBWA OLW’ETTAKA
Omwezi oguwedde e Kagalama Kalwanyi mu Kiboga, abatuuze baataayizza bannannyini taka ne babatema ne babatta okwabadde Paul Bukenya (40) ne Charles Matovu. Abalala abattiddwa; omuserikale wa UPDF Mark Mugisha,
John Bosco Mugisha bbulooka w’ettaka akolera mu Tabula property services e Nansana