TOP

Poliisi ekutte Rwomushana ku by'omulambo gwa Aine

Added 10th January 2016

Poliisi yategeezezza nti yakutte Charles Rwomushana oluvannyuma lw’okuzuula nti y’ali emabega w’ekifaananyi ekyo poliisi ky’egamba nti si kya Aine kubanga Aine, alowoozebwa nti akyali mulamu era anoonyezebwa.

 Nnaalongo Namuleme nnyina wa Aine (mu katono) ne Birabwa Ntege mwannyina wa Aine.

Nnaalongo Namuleme nnyina wa Aine (mu katono) ne Birabwa Ntege mwannyina wa Aine.

Bya BENJAMI N SSEBAGGALA ne Kizito Musoke

Eyali mbega mu ofiisi ya Pulezidenti akwatiddwa nga kigambibwa nti ye yapanze n’okusaasaanya ekifaananyi ky’omulambo oguteeberezebwa okuba ogwa Christopher Aine akulira ebyokwerinda bya Amama Mbabazi.

Poliisi yategeezezza nti yakutte Charles Rwomushana oluvannyuma lw’okuzuula nti y’ali emabega w’ekifaananyi ekyo poliisi ky’egamba nti si kya Aine kubanga Aine, alowoozebwa nti akyali mulamu era anoonyezebwa.

Aine avunaanibwa okukuba abaserikale bwe yawerekera Mbabazi e Jinja mu September wa 2015.

Avunaanibwa n’ebigambibwa nti yakuba abawagizi ba NRM e Ntungamo. Okuva lwe yabula poliisi yassaawo obukadde 20 eri oyo yenna anaagiraga Aine.

Wiiki eno waliwo ekifaananyi ky’omulambo ekyafulumye nga kigambibwa nti gwa Aine. Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga yagambye nti, Rwomushana bwe yafuna ekifaananyi ekyo n’atandikirawo okukisaasaanya ku mikutu gya kompyuta.

Rwomushana yakankanya Makerere mu myaka gye 90, bwe yamala okusoma mu Mbarara High School n’atandikawo ku Yunivasite ekibiina ky’abayizi abeeyita abanaku oba abankuseere. Yafuna ettutumu n’alondebwa okukulembera abayizi mu 1992-93.

Mu 1994 yeesimbawo okukiikirira Rujumbura mu lukiiko olwakola konsitityusoni ng’avuganya Jim Muhwezi mu kiseera ekyo eyali ow’amaanyi ennyo mu Gavumenti. Muhwezi yawangula.

Museveni yamulonda okubeera omubaka wa Gavumenti e Pader gye yava n’azzibwa mu kitongole ekikessi ekya ISO ng’avunaanyizibwa ku byobufuzi. Mwogezi nnyo atava ku leediyo, kyokka okuva lwe yaggyibwa mu ISO akolokota nnyo Gavumenti n’okwanika obunafu bwayo.

Eggulo ku Lwomukaaga, Minisita w’ensonga z’omunda, Rose Akol yatuuzizza olukuhhaana lwa bannamawulire n’agamba nti omulambo ogwalabise si gwa Aine.

Yabuuziddwa lwaki bamutaddeko obukadde 20 n’agamba nti Aine mukulu nnyo mu nkambi ya Mbabazi ate ekiseera kye tulimu kya kampeyini, bw’atassibwako maanyi kumufuna ensonga eno ejja kukozesebwa mu byobufuzi.

N’alabula abantu obutayingizaamu byabufuzi bawe poliisi omukisa ekole ogw’okumunoonya. Maama wa Aine, Nnaalongo Namuleme ow’e Semuto mu Katale Zooni yeebazizza poliisi olwa kaweefube w’okunoonya Aine.

Asabye be kikwatako bamutegeeze ekituufu ekiriwo akkakkane omwoyo.

“Ebikwata ku mwana wange mpulira biwulire teri avuddeyo kumbuulira kituufu. Omwoyo gunnuma olw’omwana wange”, bwe yategeezezza Bukedde.

Yasembye okuwuliziganya ne Aine ku lunaku lwe yabadde alina okweyanjula ku kkooti e Jinja ku misango gy’okukuba Abapoliisi. Ku olwo yakeera kumukubira ssimu ne boogera.

“Nazzeemu okumulaba mu bifaananyi ku mawulire ng’ali Ntungamo awaabadde abaalwanye. Ekinneewuunyisa kwe kumuteekako ssente obukadde 20 nti bamunoonya, atalina mmundu!

Atali nti yatta muntu kiki ekimuteekesaako amaanyi ago gonna” bwe yewuunyizza. Aine yaggyibwa awaka e Kyanja abantu abaali mu mmotoka Super Custom. Kyasooka kulowoozebwa nti poliisi y’emukutte ate oluvannyuma ne poliisi n’eteekawo obukadde 20 eri amanyi gy’ali.

Nnaalongo yatuuse Aine waabadde apangisa e Kyanja, baliraanwa ne bamutegeeza nti ennaku ezaakulembedde okubula waliwo kabangali ya poliisi ebadde ejja n’esimba okumpi ne waasula ng’eriko abaserikale abali mu byambalo bya poliisi. Waliwo endala eya buyonjo ebadde ejja awaka ng’erimu abambadde engoye ezaabulijjo.

“Abaana abo okuva kitaabwe Lt Col Julius Aine lwe yafa mu 1993, nze mbadde mbalabirira. Aine nnamuzaala November 14, 1982.

Pulezidenti yeeyama okubalabirira era Gen. Salim Saleh y’abadde abaweerera n’okubajjanja naye mu kiseera kino mbadde sinnaba kumuwuliza. Aine yafuna akabenje mu 2013 n’amala mu kkoma kumpi emyezi esatu..

Neeraliikirira kubanga obulamu butono. Aine alina omwana omu ekiseera kino yagenze ne nnyina mu kyalo”, bwe yategeezezza.

MWANNYINA OMULALA AYOGEDDE:

Birabwa Ntege mwannyina wa Aine gwe twasanze ewa nnyina e Semuto yagambye nti baagala kumanya kituufu oba mulamu bamanye gy’ali oba mufu bamuziike.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...