
Abalondoola ebyokulonda okuva mu European Union abakulirwa Eduard Kukan mu lukiiko lwa Bannamawulire.
ABALONDOOLA okulonda mu Uganda bagambye nti kwagenze bulungi mu bitundu ebisinga kyokka ne banenya poliisi n'akakiiko k'ebyokulonda obutasomesa Bannayuganda ku byokulonda n'abayamba ku poliisi okulwanyisa obumenyi bw'amateeka okutiisatiisa n'okukwata abamu ku beesimbyewo.
Ebibiina bina okuli ekya European Union Election Observers Mission (EUEOM), African Union, IGAD ne East African Election Observers eggulo baatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire ne bategeeza ku bitagenze bulungi kuliko engeri akakiiko k'ebyokulonda ne poliisi gye baakuttemu ensonga ezimu.
Era baanenyezza gavumenti obutateeka mu nkola ebiba bizuuliddwa mu kulonda okubeera kuwedde ne biba ng’ebituli bye baazuula mu kulonda okwaggwa ate bye bimu bye bazuula ne mukuddako.
Eduard Kukan Ssentebe wa EUEOM, yategeezezza nti, akakiiko k'ebyokulonda kabulamu obwerufu n'okubeera nga kasobola okwesigibwa olw'ensonga nti abalonzi tebaafunye kusomesebwa kumala n'abeesimbyewo tebaafunye kumanyisibwa ku nsonga ezimu. Yagasseeko nti baakizudde nti wabaddewo okutiisatiisa abawagizi n'abeesimbyewo okuva mu bitongole by'ebyokwerinda nga kwe bagasse n'okukwata abawagizi.
Yagambye nti wabaddewo n'okulemesa bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya okukuba kampeyini. Era balumirizza abeesimbyewo ku kaadi ya NRM okukozesa ebyuma n'ebintu bya gavumenti mu kukuba kampeyini zaabwe, n'abakozi ba gavumenti okuli ba RDC okwenyigira mu kalulu butereevu.
Banenyezza n’ekitongole ky'ebyempuliziganya ekya UCC okuggyako abantu eddembe lyabwe okukozesa emikutu gya yintanenti okuli Facebook ne WhatsApp okuva ku Lwokuna. Bano bategeezezza nti akakiiko k'ebyokulonda, ebikozesebwa baabituusizza kikeerezi mu bifo ebironderwamu mu kagenderere kubanga baludde nga bakimanyi nti okulonda kwakubeerawo nga February 18 naye ebikozesebwa ne balinda ne babitwala mu bifo ku lunaku lwennyini olw'okulonda ekyavuddeko okukeereya okulonda.
Baagasseeko nti beetegefu okuyamba Uganda okuziba ebituli ebizuuliddwa singa baba bayitiddwa mu buton-