TOP

Trump yeesunga kuvuganya Clinton ku bwapulezidenti bwa Amerika

Added 23rd February 2016

Jeb Bush, muganda w’eyaliko Pulezidenti wa Amerika, George Bush Jr era ng’ava mu famire ya George Walker Bush Sr yalabye ebigambo tebimutambulira bulungi kwe kusalawo n’awanduka mu Lwokaano ku Ssande.

 Trump ne Clinton bwe bavuganya ku Bwapulezidenti bwa Amerika

Trump ne Clinton bwe bavuganya ku Bwapulezidenti bwa Amerika

NNAGGAGGA Donald Trump, avuganya okutwala obukulembeze bwa Amerika ayongedde amaanyi mu lugendo lwe banne b’ali nabo mu lwokaano okuva mu Republican Party kati abakubya kaga ekyawalirizza omu okuwanduka mu lwokaano.

Jeb Bush, muganda w’eyaliko Pulezidenti wa Amerika, George Bush Jr era ng’ava mu famire ya George Walker Bush Sr yalabye ebigambo tebimutambulira bulungi kwe kusalawo n’awanduka mu Lwokaano ku Ssande.

Ekiseera kino bali mu kamyufu nga bagenda batalaaga amasaza gonna aga Amerika.

Trump avuganya ne Marco Rubio, Ted Cruz, John Kasich ne Ben Carson.

Olwamaze okuwangula essaza ly’e South Carolina n’abuukula nti bwe yeepimamu alaba ng’olwokaano agenda kulubeeramu ne Hillary Clinton owa Democratic Party kubanga ababadde bamuvuganya kati baavula.

Abataputa ebyobufuzi mu Amerika bagamba nti Trump w’ali y’asinga okubeera n’emikisa egiwangula okukwatira Republican Party bendera kubanga ebyafaayo biraga nti bapulezidenti abavudde mu kibiina kya Republican bwe bamala okuwangula amasaza New Hampshire ne South Carolina (nga Trump bwe yakoze) amasaza agasigaddeyo bayisa mukka mu kisero.

Avuganya okutwala tikiti y’ekibiina kya Republican alina okubeera ng’alina obuwagizi bwa babaka 1,237. Ekiseera kino Trump alina ababaka 67 abuzaayo 1,170, amuddirira Cruz alina 11 abuzaayo 1,226 ate Rubio alina 10 abuzaayo 1227.

Okuvuganya ku kkaadi ya DP olina okubeera n’obuwagizi bwa babaka 2,383. Ekiseera kino Clinton alinawo 502 abuzaayo 1,881 ate gw’avuganya naye Sanders alina 70 abuzaayo 2,318.

Okuwanduka kwa Jeb Bush mu lwokaano kyayongedde Trump amaanyi kyokka bonna okukakasa oba beeyongerayo mu maaso kyakusinziira ku kalulu ak’okubeerawo ku Lwokubiri lwa wiiki ejja, amasaza 13 lwe gagenda okukuba akamyufu okusalawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...