TOP

Lumumba asabye Besigye okwegatta ku Museveni

Added 2nd March 2016

Mu ngeri y’emu, Lumumba yasabye abatakkiriza byava mu kulonda mukulembeze okugoberera amateeka nga beekubira enduulu mu kkooti.

 Lumumba ng'ayogera

Lumumba ng'ayogera

Ssaabawandiisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba asabye Dr. Kizza Besigye ave mu by’okukuma mu bantu omuliro okwegugunga, akkirize nti yawangulwa era yeegatte ku Pulezidenti Museveni bakulaakulanye eggwanga.

Mu ngeri y’emu yasabye abatakkiriza byava mu kulonda mukulembeze okugoberera amateeka nga beekubira enduulu mu kkooti.

Bino yabyogedde bwe yabadde yeegasse ku basumba b’abalokole mu disitulikiti okuli Mukono, Buikwe, Buvuma ne Kayunga abeegattira mu mukago gwa Love, Peace and Unity.

Yabasisinkanye mu kkanisa ya Mt. KLebanon e Mukono, gye yagenze okubeebaza olw’okunoonyeza Pulezidenti Museveni obululu mu kulonda okuwedde.

Yakkirizza nti abooludda oluvuganya baawangula Museveni mu bitundu nga Wakiso ne Kampala ku bululu emitwaalo 25, kyokka mu Busoga, Museveni yabasinza obululu obuli mu mitwalo 26.

Omutandisi w’omukago guno, Bishop Samuel Lwandasa yasiimye Bannayuganda okuzza Gavumenti ya NRM mu buyinza, n’asaba abakkiriza okwenyigira mu ntegeka ez’okuggya abantu mu bwaavu era n’asiima Lumumba okutonera abalokole ssente obukadde 15 okutadika SACCO yaabwe. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....