TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Muka Samona awakanyizza eby'eddogo: 'Ave ku bya bandoga afune obujjanjabi obutuufu'

Muka Samona awakanyizza eby'eddogo: 'Ave ku bya bandoga afune obujjanjabi obutuufu'

Added 2nd March 2016

NNAALONGO Lillian Nafuna awadde Ssaalongo Samona amagezi aleme kulowooza nti waliwo abamuloga, amaanyi agamalire ku kufuna bujjanjabi obutuufu okuva mu basawo abakugu ekigere kiwone.

 Samona ne Nnaalongo we, Nnaalongo Nafuna

Samona ne Nnaalongo we, Nnaalongo Nafuna

NNAALONGO Lillian Nafuna awadde Ssaalongo Samona amagezi aleme kulowooza nti waliwo abamuloga, amaanyi agamalire ku kufuna bujjanjabi obutuufu okuva mu basawo abakugu ekigere kiwone.

Nafuna yagambye nti tayinza kubeera mu kkobaane lyonna lituusa bulabe ku Ssaalongo Micheal Mukasa Kasawuli (Samona) kubanga amulinamu abaana babiri ng’obulabe bwonna obumutuukako bubakoseza wamu, wadde nga baayawukana.

Yagambye nti abadde takimanyiiko nti Samona yalwala ekigere naye kyamukubye wala okuwulira nti eyali bba amaze wiiki bbiri ng’ekigere kimuli bubi.

Nafuna ne Samona baafuna obutakkaanya mu April 2014 ne baawukana era omukazi yakwatibwa poliisi omwaka oguwedde nga bamuvunaana okulumba ekisenge kya Samona ku wooteeri ye eya Pacify e Wakaliga n’asalaasala engoye z’omusajja n’azikumako omuliro.

Wabula ku kigere ekiruma Samona, Nafuna yagambye nti waliwo abawubisa Kasawuli nti bamuloga nga bagezaako okwongera okumumukyayisa era abamu kw’abo be bamuwa n’olugambo nti alina abasajja abalala b’ayagala.

Kyokka yawadde amagezi Samona akozese abasawo Abazungu mu kifo ky’eddagala eritategeerekeka kubanga abalimussaako bongera kumukakasa nga bwe baamuteze ettalo, ekintu kye yayogeddeko ng’ekiwubisa.

Yagambye nti asabira Samona assuuke kubanga talina bw’amujjukiza kusasula fiizi z’abaana ate nga mulwadde.

Yayongeddeko nti: “Nneewuunya engeri Samona gy’akkiririza mu lwe yayise olugambo olutambula nti abaana si babe ate nga baakeberebwa omusaayi (DNA) nga ba mwezi gumu ne kikakasibwa nti babe”.

Yagambye nti wadde yaliko e Lugogo abantu ba Samona we balumiriza nti gye baamutegera ettalo, ye mukazi Mukulisitaayo atakkiririza mu ddogo nga talina ky’amanyi ku bulwadde bumuluma.

Samona alina kkampuni ya bizigo eya SAMONA n’ebizimbe mu Kampala ne Nateete.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...