
Abaserikale nga batwala omulambo ku kabangali.
OMU VUBUKA ategeerekeseeko erya John akutukidde mu saluuni ku Bayita Ababiri.
Nnannyini saluuni, Musa Sentongo yagambye nti, John abadde atera okujja mu saluuni ye n’atuula naye nga tamumanyi.
Yagambye nti ku luno yazze ku ssaawa nga 5:00 ez’emisana n’atuula era ne bamugulira n’emmere n’alya.
Naye oluvannyuma n’amusaba 500 agende awaka naye nti akomye mu kkubo n’akomawo n’atuula era awo we yafiiridde.
Abatuuze baagembye nti, omuvubuka ono yalabiddwaako eggulo ekiro ng’agula akatogo oluvannyuma n’agenda naye kibeewuunyisiza okuwulira nti afudde. Naye nga babadde tebamanyi gy’asula wadde abantu be.
OC ku Bayita Ababiri, Lilian Nakigyo yategeezezza nti kituufu omuvubuka afudde naye tamanyikiddwa mu kitundu kino era n’asaba abantu okutambulanga n’ebiboogerako.