TOP

Pajero yange baajibba ebyalimu ne mbikwate ne baze!

Added 17th March 2016

Pajero yange baajibba ebyalimu ne mbikwate ne baze!

 Jane Lule ku ddyo alumiriza bba Henry Bazira ku kkono okumubba ate wansi ye Pajero eyogerwako okubbibwa Bazira

Jane Lule ku ddyo alumiriza bba Henry Bazira ku kkono okumubba ate wansi ye Pajero eyogerwako okubbibwa Bazira

JANE Lule omusuubuzi mu Kikuubo akyasobeddwa engeri omwami we gw’alinamu abaana gye yeekobaanye n’ababbi ne bamutwalako emmotoka ye Prado ne ssente. “Ne bwe nnategedde era ne nkakasa nga baze ye yawendudde ababbi, kyokka emmotoka yange ne ssente bikyabuze. Poliisi enoonyezza n’ebulwa.

Obulamu awaka buzibuwadde. Sikyalina mirembe-osula otya mu nju n’omusajja gw’omanyi nti yakuliddemu olukwe”, Jane bakira bw’ayogera mu nyiike. Jane agamba nti amaze emyaka 20 ne bba Henry Bazira akolera ku kitebe ky’omubaka wa Denmark mu Uganda. Bazira yali Mutembeeyi n’akwana Jane ng’akyasoma. Yayingira mu Kikuubo mu 2005, Katonda n’amukwatirako ssente ne ziwera.

N’azimba enju ya kalina e Kawempe ku lukadde. (Olukadde lwe luguudo oluva e Kawempe ne luggukira e Maganjo. “Taata w’abaana bange abasatu atabuse alinga gwe baafuuyidde emmindi. Ayagala enju tugitunde tugabane ssente.

Yafunyeyo n’omukazi omulala gw’atiitiibya ng’agamba nti omusajja eyeesobola tabeera na mukazi omu”, bwe yategeezezza. Emmotoka okubula agamba nti nga November 13, 2015 bba yannyuka n’amunonako mu Kikuubo.

Omusajja yansaba tuyite ku bbala ya Vegas e Kawempe asooke anywe eccupa ya bbiya tulyoke tudde eka. Okuva mu Kikuubo, omwami ye yavuga mmotoka ne tugisimba ku Vegas. Twayingira mu bbaala, omusajja n’anywa eccupa nnya nga mmulinze nze sirina kye nnwa njagala kudda ka kusanga baana.

Oluvannyuma lw’eddakiika nga 40, twafuluma bbaala tudde eka. Okutuuka ebweru ng’emmotoka teriiwo. Nnakola ekisoboka okutaasa emmotoka yange kubanga nnagigula ssente nnyingi. Nnapangisa aba bodaboda bagezeeko okunoonya, kyokka omwami wange n’awabula nti engeri obudde gye buli bwa kiro ababbi basobola okututusaako obulabe. Olwo essaawa zaali zisusse mu 4 ekiro.

Omusajja yagenda ku poliisi e Kawempe n’awaaba, omukazi(Jane) yadda waka asange abaana. “Nkozesezza abaserikale okuginoonya n’ebula.Bwe waayita ennaku omwami n’akomawo n’ebimu ku bintu ebyali mu mmotoka okuli jaketi,ensawo yange, engatto z’omusajja ne ‘track suite’. Bwe nnalaba ebintu bino omutima gwankubira nti baze amanyi ku bubbi buno”, bwe yategeezezza.

Ensawo baagibba mulimu ssente 4,500,000/-. Omusajja yeekaza nti ebintu yali aguze bigule okuzzaawo ebyali bibbiddwa ng’alinga ankubagiza kye yava agulira ddala ebifaanana ebyabbibwa.

Olumu nnali ntambula mu Kampala ku William Street ne nsanga omusajja asala ebisumuluzo gwe mmanyi nga mukwano gwa baze n’ambuuza- omwami wo yandekera ebisumuluzo mbimusalire kyokka teyabinona.

Jane agamba: nnajjirwa ekirowoozo ne mukema oba ebisumuluzo bya Pajero bye yasala bbyo omusajja yabinona! Omusazi w’ebisumuluzo yaluva ku ntono n’annyonnyola nti ebya Pajero yagisimba wano ne mbisala ne tubigezaamu nga bikola bulungi n’abitwala.

Prado agamba nti, yagigula nkadde ku bukadde 38. Kino Jane bwe yakigatta n’ebintu ebyali mu mmotoka bba bye yakomyawo awaka n’akakasa nga bba ye yakola olukwe lw’okubba emmotoka. “Ensi eno nzibu.

Bino byonna nnabitwala ku poliisi e Kawempe kyokka ne bagaana okuggulawo omusango omulala ku mwami wange nga bagamba nti birina kugattibwa ku fayiro eyasooka CRB1064/2015”, bw’agamba.

Ebyo okubaawo abatuuze baali bazze awaka okutusaasira, omu kubo n’ategeeza bw’amanyi omusawo Omusiraamu asobola okulomba edduwa, emmotoka ne bagikomyawo. Seeka Omusiraamu yaleetebwa n’asaba tugule enkoko asome edduwa ng’agikutteko.

N’agamba nti we mmalira edduwa emmotoka ejja kuba ezuuse nga n’eyagibba mufu. Amangu ago omwami wange yesooka nti y’aba agenda okugula enkoko. Bwe yatuuka eyo n’akuba essimu nti enkoko zimulemye okwawula Eng’anda ku Nzungu.

Yatumya Seeka agende agironde. Seeka yakomawo ne baze nga wayise essaawa bbiri, olwo Seeka nga yeefudde n’ategeeza nga dduwa bw’atakyagisomye. Bazira ayogedde Nze sirina buzibu bwa maanyi ku mukazi wange wadde nga tulinamu obutakkaanya ng’amaka amalala gonna. Ensonga zonna ziri ku poliisi y’emanyi ekituufu.

Eby’okubula kw’emmotoka biri ku CPS. Birimu n’aba Flying Squad. Saagala nnyo kwogera ku nsonga ziri ku poliisi. Poliisi ennyonnyodde Akulira Flying Squad Herbert Muhangi yategeezezza Bukedde nti ensonga azimanyi bulungi.

Jane Lule byonna yabimbuulira nga bw’atayambibwa Kawempe n’obujulizi obulaga nti bba amanyi ku bubbi bw’emmotoka. Nnalagira fayiro eggyibwe e Kawempe n’essibwa mu ofiisi y’akulira bambega Kampala Metropolitan era balina we batuuse.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....