TOP

Bobi Wine awanyisiganyizza ebisongovu ne Poliisi

Added 17th March 2016

Bobi Wine awanyisiganyizza ebisongovu ne Poliisi

 Bobi Wine ng'alaga akulira Poliisi y'oku Kalerwe Dan Ampadde ennamba z'abanene mu poliisi baagenda okukubira singa babeera bagaanye okuta omukozi we

Bobi Wine ng'alaga akulira Poliisi y'oku Kalerwe Dan Ampadde ennamba z'abanene mu poliisi baagenda okukubira singa babeera bagaanye okuta omukozi we

BOBI WINE awanyisigannyiza ebisongovu n'abasirikale ba poliisi ku Kaleerwe oluvanyumma lw'okukwata omuvubuka agambibwa okubeera omukozi we ne bamusiba.

Omuvubuka ategeerekeseeko amanyiddwa nga Tonny Kiweewa agambibwa okubeera omukozi wa Bobi Wine akwatiddwa poliisi oluvannyuma lwa Kiggundu okumuwaabira ku poliisi nti yekobaanye ne banne mu kibiina kyabwe ekimanyiddwanga  Kasolo group ne bamukuba ne bamubbako laptop ye.

Bobi Wine azze okuwulira ensonga z'omukozi we era piliisi olumaze okumunnyonnyola buli kimu n'atabukira poliisi ng'ayagala omukozi we ayimbulwe.

Bobi Wine agenze mumaaso n'okuggyayo ennamba z'abanene mu poliisi ng'eno bwategeeza atwala poliisi y'o Ku kaleerwe Dan Ampade nga bwagenda okukubira afande Kayihura oba Felix Kaweesi singa banaaba tebatadde mukozi we.

Dan Ampadde ategeezezza Bobi Wine nti omukozi we tayinza kumala gamuta ng'ate aliko omuntu amulumiriza okumubba era poliisi egenda kugenda mumaaso n'okunoonyereza kwayo ku kibinja ky'abavubuka bano wabula ye Tonny Kiweewa wakutwaliba mu kkooti avuunaanibwe omusango gw'obubbi oguli ku SD REF:09/15/03/2016

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...