TOP

Abatujju balaalise okutta famire ya nnaggagga Trump

Added 19th March 2016

FAMIRE ya Donald Trump eri mu kusattira okutagambika okuvudde ku bubaka obwasindikiddwa abateeberezebwa okuba abatujju nga bulagira Trump okuwanduka mu lwokaano lwa Pulezidenti wa Amerika.

 Trump (ku kkono) ne mutabani we Eric, 32, mu kampeyini.

Trump (ku kkono) ne mutabani we Eric, 32, mu kampeyini.

NEW YORK, Amerika

FAMIRE ya Donald Trump eri mu kusattira okutagambika okuvudde ku bubaka obwasindikiddwa abateeberezebwa okuba abatujju nga bulagira Trump okuwanduka mu lwokaano lwa Pulezidenti wa Amerika.

Bamulaalise nti bw’atakikola, bagenda kutuusa obulabe ku baana be ne mukazi we era obubaka buno bwatuukidde ku kimu ku bizimbe ebiddukanyizibwa Eric Trump, mutabani wa Trump. Trump ayagala kuwangula ‘kamyufu’ k’aba Republican asobole okuvuganya ku bwapulezidenti mu kalulu akanaakubwa nga November 8, omwaka guno.

Ebitongole bya Amerika ebikessi okuli FBI ne The Secret Services bitandikiddewo okunoonyereza ku baasindise ekibaasa omwaba-dde obubaka nga bataddemu n’obuwunga obweru, ekyeraaliikirizza abooluganda lwa Trump nga bateebereza nti butwa.

Kwabaddeko akabonero akalaga nti ekibaasa kyayise Massachusetts okwolekera ‘amatwale’ ga Trump e New York.

Poliisi y’e New York yasitukiddemu n’ekima ekibaasa kino ku kifo kya Trump eky’e Manhattan 100 Central Park South. Eweerezza obuwunga mu bakugu babwekebejje.

Bambega balondoola obubaka gye bwavudde era olunwe basinze kulusonga ku batujju b’akabiina ka ISIS, Trump b’aludde ng’akolokota.

Kampeyini za Trump amaze ekiseera ng’azitambuliza ku kulwanyisa butujju mu Amerika n’okukiggumiza nti bw’awangula entebe, tagenda kukoma ku kubonereza batujju abanaaba bakwatiddwa mu kutta abantu, wabula waakulondoola ne famire zaabwe zonna azibonereze kubanga ziba zaalemererwa okumatiza omwana akyawe obutujju ate nga n’ebiseera ebimu abatujju basalawo okwetulisizaako bbomu ng’ababateekamu ssente babawadde omusimbi ne bagulekera famire.

Kuno Trump abadde agattako okulwanyisa Abagwira n’Abasiraamu b’alowooza nti omwo mwe mujjira abatujju abataagala Amerika.

Okwawukanako ku ngeri Trump gy’ayanguwamu okwanukula ku buli nsonga, ku kino yaluddewo okubaako ky’ayogera era emikutu gy’amawulire egyamwekubyeko obwedda agitegeeza kimu nti: Mumpeemu akadde mmale okwetegereza ensonga eno!

Trump y’akulembedde banne ababiri b’avuganya nabo ng’alina obululu bw’ababaka 673 ng’addiriddwa Ted Cruz (410) ne John Kasich (obululu 143). Trump yaakamala okuwangula amasaza 4 kw’ago 5 ku Lwokubiri. Yawangudde Florida, North Carolina, Illinois ne Missouri.

Omukutu gwa NBC News gwategeezezza nti lipoota z’abakugu ezaakebedde obuwunga tezaasanzeemu kintu kya bulabe bwa maanyi era ne bagumya famire ya Trump nti baakugiwa obukuumi obwetaagisa.

Eric ye mwana wa Trump owookusatu era ali ku lusegere lwa kitaawe mu kampeyini. Trump bwe yayawukana ne mukazi we Ivana Trump (azaala Eric) mu 1993 yawasa Marla Naples (wakati wa 1993 ne 1999) naye ne baawukana n’ayingizaawo embooko Melania Knauss mu 2005 (kati wa myaka 45) era ono bwe yalabye ku kibaasa ekyabaddeko ennaku z’omwezi March 17, 2016, n’atya nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...